TOP

Omulabirizi Lubowa akyalidde Mutebi e Bungereza

By Benjamin Ssebaggala

Added 22nd October 2019

E Bungereza yayaniriziddwa Abakristaayo ne Rev. Nathan Ntege. Mu maka ga Ntege Omulabirizi Mutebi ne mukyala we Milly Mutebi gye babeera okuva mu July lwe baasiibulwa mu ddwaaliro. Wano we bava ne bagenda mu ddwaaliro okwekebejjebwa.

Bpmutebipix 703x422

Re. Nathan Ntege ( ku kkono), Janepher Lubowa, Milly Mutebi, Bp. Hannington Mutebi ne Bp. Michael Lubowa.

OMULABIRIZI wa Central Buganda Michael Lubowa ne mukyala we Janepher Lubowa baakyalidde Bp. Hannington Mutebi ali mu kujjanjabibwa kookolo w’omu busomyo.

Omulabirizi Lubowa yagenda e Bungereza nga October 10, 2019 era bamusuubira okudda e Kasaka wiiki ejja nga October 31, 2019. Baagenze ku bijaguzo by’Obulabirizi bw’e Bristol nga buweza emyaka 50.

E Bungereza yayaniriziddwa Abakristaayo ne Rev. Nathan Ntege.  Mu maka ga Ntege Omulabirizi Mutebi ne mukyala we Milly Mutebi gye babeera okuva mu July  lwe baasiibulwa mu ddwaaliro. Wano we bava ne bagenda mu ddwaaliro okwekebejjebwa.

Omwezi oguwedde, Omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira ng’ali ne mukyala we Faith Luwalira nabo baagenda e Bungereza ne bamulambula. Bp. Mutebi ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Kings College Hospital e Bungereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...