TOP

Bakutte abadde yeeyita dokita n'abba abalwadde

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2019

POLIISI eriko omusajja gw'ekutte abadde yeeyita omusawo mu ddwaaliro lya Kawempe National Refferal Hospital. Kigambibwa nti Isaac Osire aludde ng'ajja abalwadde mu ddwaaliro lya gavumenti e Kawempe n’abatwala mu kiriniki ye.

Osire1 703x422

Osire ne ofiisa wa poliisi.

Bya Reginah Nalunga

POLIISI eriko omusajja gw'ekutte abadde yeeyita omusawo mu ddwaaliro lya Kawempe National Refferal Hospital. Kigambibwa nti Isaac Osire aludde ng'ajja abalwadde mu ddwaaliro lya gavumenti e Kawempe n’abatwala mu kiriniki ye.

 Osire akwatiddwa leero oluvannyuma lw'okusangibwa ng'ayambadde ettaawo ly’abasawo mu ddwaaliro e Kawempe, Osire  omusawo mu kiriniki ya Medstar clinic okumpi n’eddwaaliro ly' e Kawempe.

 sire nga bamufulumya eddwaaliro lye awempe Osire nga bamufulumya eddwaaliro ly'e Kawempe.

 

 Akwatiddwa abakulira eddwaaliro lino ng'aliko abalwadde bazze okukolako.

Kyokka Osire abyegaanye n’agamba nti abadde aliko abalwadde beyaweerezaawo mu kattivi (ct scan) nga baabadde azze okulaba oba bakolereddwaako.

 sire nga bamukunguzza okumutwala ku kalwaliro ke Osire nga bamukunguzza okumutwala ku kalwaliro ke.

 

Bwe bamukutte bamukunguzza okutuuka ku kiriniki wabadde akolera kyokka eno basanzeeyo kigumaaza kubanga temubadde bikozesebwa.

Osire ayongeddeko nti amaze omwaka mulamba ng'akolagana n'abalwadde mu ddwaaliro lino.

 kasenge sire mwajjanjabira abalwadde Akasenge Osire mwajjanjabira abalwadde.

 

Grace Rubaale omu kubakulira eddwaaliro ly'e Kawempe agambye nti yali yasangako Osire munda mu ddwaaliro kyokka n’amugamba nti ye muyizi ali mu kugezesebwa.

Abalwadde basanyukidde ekyokukwata Osire kubanga baludde nga babbibwa ng'abalowooza bakolagana na mukozi wa ddwaaliro.

Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi, agambye nti Osire oguddwaako ogw’okweyita  kyatali ku fayiro nnamba SD:REF: 43/22/10/2019. Omukwate akuumibwa Ku poliisi e Kawempe.

 aboratory yakalwaliro ka sire efaanana bwetyo Laboratory y'akalwaliro ka Osire efaanana bwetyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...