TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekirabo ky'ekijjukizo ky'amazaalibwa ga Kkwiini nkikuuma nga kalira ka mwana

Ekirabo ky'ekijjukizo ky'amazaalibwa ga Kkwiini nkikuuma nga kalira ka mwana

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2019

John Ssenjobe 84, omutuuze ku kyalo Kitegomba mu Town Council ya Kasangati mu disitulikiti ya Wakiso, akyalojja n'okutendereza Katonda ng'ajjukira Nnaabakyala wa Bungereza bwe yawaayo ebikopo bigabirwe abaali abayizi mu kiseera ekyo olwokujjukira amazaalibwa ge ge yali akuza mu mwaka ogwo ogwa 1953.

Ssenjobengakuteekikopoanyonyolaengerigyekyamuweebwamosesnyanzi 703x422

Ssejobe ng'alaga ekikopo ekyekijjukizo

Bya Moses Nyanzi
 
             John Ssenjobe 84, omutuuze ku kyalo Kitegomba mu Town Council ya Kasangati mu disitulikiti ya Wakiso, akyalojja n'okutendereza Katonda ng'ajjukira Nnaabakyala wa Bungereza bwe yawaayo ebikopo bigabirwe abaali abayizi mu kiseera ekyo olwokujjukira amazaalibwa ge ge yali akuza mu mwaka ogwo ogwa 1953.
             Ssenjobe gwe nasanze mu maka ge agamba: "Gaali mazaalibwa  ga Kkwiini ono Erizabeth II era olunaku luno lwakuzibwanga mu Uganda buli mwaka kuba ebiseera ebyo twali tukyafugibwa Bungereza. Omwaka ogwo kyasalibwawo amasomero gonna agaali mu Kampala okwali Lubaga, Nsambya, Namirembe, Kibuli, Namilyango ,Kisubi, Aggrey Memorial, Budo, Namungoona n'amalala gakungaanire mu kifo kimu mu kiseera ekyo awaayitibwanga Kampala Sports Football Ground kati awali Serena.
 
 ekikopo okuli ekifaananyi kya kkwiini ekikopo okuli ekifaananyi kya kkwiini

 

              Kino mu biseera ebyo kyali kisaawe, ky'Abazungu n'amatiimu amalala nga we bacangira akapiira. Mu kukuza amazaalibwa g'omulundi ogwo abaali abayizi mu masomero agaali gakola Kampala twaweebwa buli omu ekikopo nga akobonero k'okujjukira amazaalibwa ga Kkwiini era nga byatukwasibwa eyali Gavana mu biseera ebyo, Cohen. Kye siyinza kwerabira ku Gavana ono nti ye yawang'angusa Ssekabaka Muteesa.
Bukya mpeebwa kikopo kino nga nkyasoma mu Lubaga nafuna okwagala eri Nnaabakyala nga nneebuuza nze ani aweebwa ekikopo okuli ekifaananyi kye era ne nkikuuma butiribiri nga sikkiriza muntu yenna okukinywerako yadde okumanya we nkitereka n'okutuusa kati etteeka natambula nalyo tekivaayo nga si nze nkyeggyiddeyo okukinyweramu caayi.
 
 kikopo ku luuyi olulala kiriko akabonero ka ungereza Ekikopo ku luuyi olulala kiriko akabonero ka Bungereza

 

                Ebintu nga bino byetaaga okukuuma era nkubiriza abavubuka bonna okuyiga okukuuma ebijjukizo nga bino mu bulamu bwabwe nga byakubayamba okunyumizanga bazzukulu baabwe biki bye bazze bayitamu ate nabo abazzukulu bagende n'enkola y'okukuuma ebijjukizo mu bulamu bwabwe.
               Ekirungi ekiri mu kukuuma ebijjukizo nga bino biba biraga Uganda gy'evudde w'etuuse ne gy'eraga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda

Hot1 220x290

Minisita amazzi gatutabukidde

Minisita amazzi gatutabukidde

Lit1 220x290

Omukazi atulugunya abaana bange...

Omukazi atulugunya abaana bange

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali