TOP

Uganda egenda kutandika okukola amasimu agaayo

By Muwanga Kakooza

Added 22nd October 2019

UGANDA egenda kutandika okwekolera amasimu ekkolero eriri mu kuzimbibwa mu kibangirizi ky’amakkolero e Namanve erya ‘Engo Holidings’ bwe linaaba limaliriziddwa.

Smartp1 703x422

Omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusikiriza abaggagga okutandikawo emirimu egivaamu ensimbi David Muwanga yagambye Bukedde nti lino lye limu ku makkolero agali mu kuzimbibwa mu kibangirizi ky’amakkolero e Namanve.

Amakkolero 50 ge gali mu kuzimbibwa mu kibangirizi kino kati era gasuubirwa okumalirizibwa mu June w’omwaka ogujja. Amakkolero gano bwe ganamalirizibwa ekibangiriza kijja kuba nga kirimu amakkolero kikumi era nga gawadde Bannayuganda abawerako emirimu egyenjawulo.

Dayirekita w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibangirizi by’amakkolero (Industrial Parks) Hamuza Galiwango yagambye nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi ekya ‘Uganda Investment Authority (UIA)’ kiri mu kunoonya ssente za kwongera kuzimba nguudo n’okubunyisa amasanyalaze mu kibangirizi kino.

Yagambye nti ekikyasibye Uganda Investment Authority okufuna ensimbi  ye lipooti ekwata ku by’obutonde bw’ensi nga bwe bugenda okukosebwa mu kitundu kino. Era ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’obutende bw’ensi ekya NEMA bwe kinagikakasa Uganda ejja kuba esobola okufuna ensimbi obukadde 246 eza EURO  (eza Uganda akatabalika kamu) ez’okwongera okutereeza ekibangirizi kino.

Ensimbi Uganda egenda kuziggya mu kkampuni ya  Bungereza ewola ensimbi emanyiddwa nga ‘United Kingdom Export Company’ .

Yagambye nti UIA yakola endaaano ne kkampuni ya Lagan Construction Company egenda okuzimba ebintu byonna ebyetaagisa okwongera okulongoosa ekibangirizi ky’amakkolero e Namanve.

Bye kigenda okukola mulimu okukuba enguudo kkolaasi,okutambuza amasanyalaze n’amazzi n’okutereeza ebyempuliziganya mu kibangirizi.

Yagambye nti UIA egenda kussaawo obukolero bw’amasanyalaze buna mu bibangirizi by’amakkolero e Namanve, Luzira, Lugazi n’e Mbale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono