TOP

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja

By Muwanga Kakooza

Added 22nd October 2019

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta ebibonerezo eri abamala gamansa kasasiro ekivuddeko obujama n’okwonoona obutonde bw’ensi naddala mu bibuga

Unique 703x422

Minisita atalina mulimu gwa nkalakalira Mary Karooro ng’ayogera.

‘’Abantu bagenda bamansa kasasiro buli we basanze. Bamala gakasuka bucupa lwa mazzi  ekivuddeko emyala okuzibikira,’’ Karooro  bwe yagambye.

N’agamba nti omulimu  gw’okubaga etteeka lino gwali gutandikiddwa palamenti kyokka gavumenti yagweddizza.

Karooro yagambye nti gavumenti yalagidde minisitule y’ebyamazzi ne gavumenti z’ebitundu okubaga etteeka erigenda okulwanyisa omuze guno.

Yabadde abuulira bannamawulire ku by’okukuza olunaku lw’ekibiina ky’amawanga amagatte olubaawo October 24.

N’ategeeza nti n’olukiiko lwa baminisita ba Uganda lwatudde ne lukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okutuukiriza ebigendererwa by’ekibiina ky’amawanga amagatte ebikwata ku kuggyawo embeera yonna enyiga abantu ng’omwaka 2030 we gunaatuukira ebimanyiddwa nga ‘Sustainable development Goals.’

Embeera erwanyisibwa mulimu; okulwanyisa obwavu,ebyobulamu ebibi,okutumbula ebyenjigiriza,obuyonjo n’amazzi, okutumbula enkulakulana n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu, okuzimba enguudo n’ebirala ebiyamba abantu,okubunyisa omwenkanonkano ,okulwanyisa enkyukakyuka mu mbeera z’obudde  n’ebirala.

Karooro eyabadde n’omukungu w’ekibiina ky’amawanga amagatte atuula mu Uganda Rosa Malango yagambye nti ensonga zino gavumenti ya Uganda ezikwasizza maanyi era egenda kusomesa Bannayuganda ku nsonga zino.

Gyo emikolo gy’okukuza olunaku lw’ekibiina ky’ensi yonna gijja kubeera kubeera ku kisaawe e Kololo nga gisuubiewa okukulemberwa Pulezidenti Museveni nga October 24.

Ate nga October 27 wajja kubaawo okudduka okuli ku mulamwa gw’okulaba nga Kampala abaamu empewo ennungu nga gijja kusibulwa omukama wa Bunyoro Oyo Nyimba Kabamba Iguru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...