TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza ku nguudo ssente n'ebyokulya waakusibwa - Minisita

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza ku nguudo ssente n'ebyokulya waakusibwa - Minisita

By Muwanga Kakooza

Added 22nd October 2019

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa ng’awa abaana abatayayiza ku nguudo z’omu Kampala n’ebibuga ebirala ssente n’ebyokulya wakusibwa.

Unity 703x422

Minisita Florence Nakiwala Kiyingi

Nakiwala yagambye nti waliwo amateeka agasobola okuyitibwamu okuvunaana omuntu yenna anaakwatibwa ng’ayamba okulemeza abaana ku nguudo naddala ng’ayita mu kubawerako eby’okulya ne ssente era bwatwalibwa mu kkooti ne gumukka mu  vvi asobola okusibwa oba okuwesebwa engasi.

Bino yabigambye bannamawulire ku Media Centre ng’ababuulira ebyatuukiddwaako olukiiko lwa baminisita olwatudde mu ofiisi ya Pulezidenti.

Nakiyingi yagambye nti waliwo ebbago ly’etteeka eddala eryayisibwa KCCA kyokka nga likyabulako mukono gwa loodi meeya erigenda okussibwa mu nkola okulaba ng’ekizibu ky’abaana b’okunguudo kisalirwa eddagala.

Kiyingi yagambye nti olukiiko lwa baminisita lwawadde ne gavumenti z’ebitundu naddala disitulikiti amagezi okuyisa amateeka agaazo okulwanyisa abaana b’oku nguudo.

Era ne lukiriza okuwa minisitule y’ekikula ky’abantu obuwumbi obunukunkiriza mu mukaaga okukola ku kizibu ky’abaana b’oku nguudo.

Nakiwala yagambye nti okuva mu June w’omwaka guno abaana 725 be bakaggyibwa ku nguudo z’omu Kampala ne batwalibwa mu bifo gye bakubuumirwa.

Kyokka n’ategeeza nti olw’ebbula ly’ensimbi minisitule ye ebadde tenatuuka mu bifo birala nga Wakiso n’ewalala okuggya abaana ku nguudo.

Yagambye nti abaana abasing ku nguudo z’omu Kampala tebakyaliko era entegeka zikolebwa okulaba ng’ekizibu kino kituuka okufumwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...