TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte omukyala abadde atunda omwana we afune entambula emuzza ewaabwe!

Poliisi ekutte omukyala abadde atunda omwana we afune entambula emuzza ewaabwe!

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd October 2019

Poliisi ekutte omukyala abadde atunda omwana we afune entambula emuzza ewaabwe!

Kip2 703x422

Omukyala agambibwa okutunda omwana ng'ali ku Poliisi e Lwengo

Bya Harunah Mugerwa
 
POLIISI ye Lwengo ekutte n'eggalira omukyala agambibwa nti abadde agezaako okwagala okutunda omwana we afune ssente ezimuzza ewaabwe e Bushneyi.
 
Allen Akwira 24yrs nga mutuuze w'e Kyawaggoonya mu Disitulikiti y'e Lwengo y'akwatiddwa poliisi oluvannyuma lw'okufuna amawulire nti omukyala ono abadde anoonya katale ka mwana we amutunde afune ssente ezidda ewaabwe oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya n'omwami we.
 
 
Omukyala ono kigambibwa nti waliwo mukwano gwe gwe yabuulirako nti baafunye obutakkaanya n'omwami we wabula anoonya ssente kumuviira bw'atyo n'amuwa amagezi nti waliwo kampuni ezigula abaana bw'atyo omwana we n'amussa ku katale.
 
Mu kiseera omukyala ono  akuumiibwa ku Poliisi ye lwengo era aguddwako gw'okutunda omwana oguli ku nnamba 25/20/10/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...