TOP

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON 2020

By Silvano Kibuuka

Added 23rd October 2019

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo nti ‘366 Back To Namboole With The Cranes’.

Nsonga 703x422

Bategeezezza nga bwe bapangisizza n’ennyonyi ya Uganda Airlines eya Bombardier okutwala ttiimu esambe omupiira gwayo ogusooka ne Burkina Faso mu kibuga Ouagadougou nga November 13.

Ttiimu esitula November 12 ate bakomewo nga 14 olwo ate batandike okwetegekera ogwa Malawi nga November 17 e Namboole.

Akola nga pulezidenti wa FUFA, Justus Mugisha agambye nti bataddewo ebifo by’abawagizi 30 abanaagenda ne Cranes ku nnyonyi eyo nga baakusula mu woteeri y’emu era bayingire okulaba omupiira nga byonna baakusasula ddoola z’Amerika 1,500.

“Okupangisa ennyonyi twayagadde okusobozesa Cranes okudda mu budde ate yeetegekere ogwa Malawi nga kino kibadde tekijja kusoboka nga bakozesa ennyonyi eza bulijjo olw’entambula enzibu naddala okugenda mu bugwanjuba bwa Africa”, Mugisha bw’ategeezezza bannamawulire e Mengo.

Ye omutendesi John Mckinstry agambye nti  Burnika Faso si nyangu kubanga esubiddwa empaka za AFCON enfunda bbiri ate nga Uganda ye yagigyako omwaka oguwedde.

“Burkina Faso nnungi ate eyagala. Malawi nayo eyagala kugenda mu AFCON n’olwekyo tulina okulaga omutindo okuyitamu. Twetaaga obubonero bwonna 12. Abasambi abali awaka nabo balina omukisa okwegatta ku ttiimu singa banaalaga omutindo”, Mckinstry bw’ategeezezza.

Cranes yasemba okukuba Burkina Faso omwaka oguwedde ggoolo 1-0 e Namboole nga yateebwa Patrick Kaddu ate nga Malawi bwe yakyala kuno mu gw’omukwano baalemagana 0-0.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza