TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti eyongezzaayo ogwawawaabirwa omugagga Kiwanuka

Kkooti eyongezzaayo ogwawawaabirwa omugagga Kiwanuka

By Sarah Zawedde

Added 27th October 2019

Kkooti eyongezzaayo ogwawawaabirwa omugagga Kiwanuka

Seb2 703x422

Sebuliba (ku ddyo) ne looya we gwe yazze naye mu kkooti.

KKOOTI ewozesa ensonga z’amaka e Makindye eyongezzaayo okuwulira omusango omwana Jordan Sebuliba 40, gwe yawawaabira kitaawe omugagga Mohan Kiwanuka 69 ng’ayagala kkooti emukake amugabire ebimu ku byobugagga bye abiddukanye ng’asinziira ku nsonga nnya z’abadde amalirako ssente ze.

Omulamuzi Geofrey Namundi owa kkooti ekola ku nsonga z’amaka yayongezzaayo okuwulira omusango Sebuliba gwe yaggula ku kitaawe Kiwanuka ng’agamba nti fayiro ekwata ku musango guno tennaba kutuuka ku mmeeza ye.

Omusango guno Sebuliba yasooka kuguggulawo mu Kkooti Enkulu ewozesa emisango gy’ettaka abaasazeewo okugusindika mu kkooti ewozesa ensonga z’amaka e Makindye. Omulamuzi Namundi yayongeddeko nti fayiro bwe yava mu ofiisi y’ebyettaka yalina okuyita ew’omulamuzi akulira kkooti ento nga yalina okugimukwasa kyokka mu kiseera kino ali bweru wa ggwanga mu Zanzibar nga balina okumulinda amale okudda basobole okutambuza omusango guno.

Sebuliba ayagala kkooti emugabire ebyobugagga okuli ekifo kya Golf Course poloti nnamba 21-29 okuli ekifo kya Seven Trees e Kololo awakolerwa emikolo, poloti 1758 Busiro Bwerenga bbulooka 413 ne poloti 22 Kanaakulya Kaggwa Close FRV KCCA volume 371 okuli amaka maama we w’asula.

LWAKI SEBULIBA AYAGALA EBYOBUGAGGA BINO

Okusinziira ku mpaaba, Sebuliba ayagala ebyobugagga bino y’aba abiddukkanya kubanga y’abadde alabirira maama we Beatrice Bayiga okuva mu 2017, kitaawe gwe yasuulawo mu 1989 nga ssente ezimulabirira ziva mu poloti ya Seven Trees e Kololo. Sebuliba agattako nti yasonda ezimu ku ssente ezaakola omukolo gw’omu ku bannyina, nnyina gw’azaala bwe yali ayanjula bba.

Ekirala agamba nti yakozesa ssente ezimu okulongoosa amalaalo gaabwe ag’ekika. Ate ssente endala yazisaasaanya mu kuwa obujjanjabi eri baganda be n’ebyetaago ebirala. Nga bino byonna kkooti bw’ebiteeka mu nkola ajja kusobola okuggyayo ssente ze z’abadde asaasaanya.

KU KKOOTI awaa BADDE OMUSANGO Balooya ba Kiwanuka abaakulembeddwaamu Faisal Mukasa owa Fides Co. Advocates be baasoose okutuuka ku kkooti e Makindye. Oluvannyuma Sebuliba yazze ne balooya be aba BKA Co. Advocates kyokka olwayingidde kkooti, omulamuzi Namundi n’akabatema nga bw’atalina fayiro kubanga temutuukangako okuva lwe baakola enkyukakyuka mu musango kwe kusalawo okugwongezaayo okutuusa ku Lwokubiri wiiki ejja.

Beatrice Luyiga Kavuma Kiwanuka maama wa Sebuliba naye oluvannyuma yatuuse ku Kkooti n’omu ku batabani be ne babeera mu kafubo okumala akabanga. Oluvannyuma baafulumye ne balinnya mmotoka ne babulawo.

ENGERI SEBULIBA GYE YAGGULAWO OMUSANGO

Omusango gwaggulwawo ng’ayita mu balooya be aba BKA and Co. Advocates nga guli wakati wa Jordan Sebuliba, maama we Beatrice Kavuma Kiwanuka, kkampuni ya Lower Hill Management ne Mohan Kiwanuka ne kkampuni ya Visa Investments. Gwasooka okuggulwawo nga July 9, 2019 mu kkooti ewoza emisango gy’ettaka ku fayiro nnamba 535/2019.

Mu kiwandiiko Sebuliba kye yakwasa kkooti eno ayagala ekake kitaawe amukwase ebimu ku byobugagga olw’obuvunaanyizibwa bw’abadde akola.

GUNO MULUNDI GWAKULUBIRI NGA SEBULIBA avunaana KITAAWE Sebuliba yasooka kutwala kitaawe Kiwanuka mu kkooti ng’agamba nti aliko obukosefu ku mutwe ng’ayagala lkooti emukake atwalibwe mu ddwaaliro akeberebwe era n’agisaba emuuwe obuvunaanyizibwa y’aba addukanya ebyobugagga bya kitaawe.

Musa Ssekaana omulamuzi wa Kkooti Enkulu ewozesa emisango gy’engassi yagoba omusango guno ng’agamba nti ng’ali wamu ne balooya b’enjuyi zombi olwa Kiwanuka ne Sebuliba, yayogera ne Kiwanuka okumala eddakiika 45 n’akizuula nga talina buzibu bwonna ku mutwe n’alaga nti eky’okumusindika mu ddwaaliro okumwekebejja kimuggyako eddembe lye. Wabula Sebuliba teyamatira n’ebyava mu musango n’asuubiza okweyongerayo mu kkooti esingako.

Wano era yasaba kkooti emuwe olukusa asigale nga y’addukanya ebyobugagga omuli kkampuni 33 ezikola emirimu gya kitaawe egy’enjawulo kyokka nakyo omulamuzi yakigoba. Balooya

BAVUDDE MU MUSANGO Balooya ba Kkampuni ya Mayiga and Buwule Co. Advocates ababadde bawoza emisango gya Kiwanuka bavudde mu musango guno kubanga be bawandiisi ba kkampuni ya Visa Investments kyokka nga nayo baagiwawaabira mu musango. Looya Fisal Mukasa owa Fides ye yayingidde mu musango guno nga y’awolereza Kiwanuka ne Kkampuni ya Visa Investment.

BY’ASABA MU KIWANDIIKO Agamba nti amaka agali ku poloti nnamba 22A Kawalya Kaggwa Close ayagala bagaggye mu mannya ga kkampuni ya kitaawe eya Summit Ltd, poloti 1758 Busiro Bwerenga nayo bagiggye mu mannya ga kkampuni ya kitaawe eya Visa Investments Ltd. Ono era ayagala kitaawe ne kkampuni ya Visa Ltd bamuliyirire olw’okufiirizibwa kwonna okubaddewo. Yasabye kkooti era ekome ku kitaawe ne basajja be abaagala okumusengula mu byobugagga bino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...

Magogoweb 220x290

Magogo amazeeko ekibonerezo ky'okutunda...

Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo asuubirwa okukomawo mu ofiisi oluvannyuma lw'ekkoligo ly'emyezi ebiri nga teyeenyigira...