TOP

Don Bahati ne Medie Moore bawangudde engule

By Martin Ndijjo

Added 28th October 2019

Don Bahati awangudde engule ya sereebu w'omwaka ne yewaana.

Ddoo 703x422

Don Bahati(wakati) mu katono y'engule gye yawangudde n'ali ku siteegi ne Sheebah Karungiu

Don Bahati Lubega amezze Bad Black ne Anita Fabiola ne yewaana “Nze aliko abalala bali kubyabwe”

Don Bahati (Bahati Lubega) omu ku Bannayuganda ababeera e South Africa abamanyiddwa okulya obulamu n’eswagga buli lwe bayingirawo wano mu ggwanga y’omu bawangudde engule mu mpaka za Starqt Awards ezaayindidde mu kibuga Johannesburg e South Africa ku Lwomukaaga.

 edi oore nengule gye ywangudde Medi Moore n'engule gye ywangudde

Empaka zino ezitegekebwa buli mwaka e South Africa zivuganyizibwako Bannayuganda ne basereebu okuva mu mawanga amalala mu biti eby’enjawulo.era Bahati okulangirirwa ku bwa sereebu w’omwaka (Best Celebrity)  yamezze banne bwe babadde bavuganya okuli; Bad Black, Anita Fabiola, Medi Moore, Munnakenya Huddah Monroe, Omutanzania Hamisa Mabetto, DJ Qube okuva mu Bugirimani ne Jimmy Paul.

 abamu ku bantu abeetabye ku mukolo abamu ku bantu abeetabye ku mukolo

Bahati olumukwasiza engule nategezza nga bwagenda okujaguliza awamu n’abawagizi be mu Uganda obuwanguzi buno ku kabaga kategese mu club Guvnor nga December 26.

Ye Medi Moore yawangudde ngule ya sserulungi wa Bannayuganda e South Africa (Mr. Uganda South Africa) naye neyebaza abawagizi be abamubeereddewo okulaba nga atuuka ku buwanguzi buno.

  edi ku kkono ne ahati Medi (ku kkono) ne Bahati

Ate ye Ashburg Kato omu ku bantu abamanyiddwa okuwandiika amawulire ku 'social media' (Blogger) yawangudde engule y’omuntu alina kyagasizza ekitundu kye (Best Community Impact) kuno kw’osa n’abantu abalala bangi abawangudde mu mitendera egisoba mu 40.

 shburg atowakati naye yawangudde Ashburg Kato(wakati) naye yawangudde.

Sheebah Karungi eyavuganyiza ku ngule y'omuyimbi omukyala asinze okuyimba ye yakulembeddemu abasanyusizza abantu. yabakubye omuziki ogwabafuukudde abamu ne bamusaba ne 'anko'.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza