TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga asibye mukazi we amagulu n'amukuba okumwogoloza

Omugagga asibye mukazi we amagulu n'amukuba okumwogoloza

By Ponsiano Nsimbi

Added 28th October 2019

OMUGAGGA eyasibye mukazi we amagulu n’amukuba okumwogoloza, yasooka kuteeka kkamera mu dduuka ezibadde zikwata ebigenda mu maaso.

Yimba0 703x422

Namuyomba nga bamusibye amagulu. Jjuuko ne Namuyomba mu biseera byabwe eby’eddembe.

Olwo yali yeekengedde nti waliwo abasajja abamutabulira amaka era ng’omukazi nti bamusanga ku mulimu.

Mu kuteeka kkamera (CCTV) mu dduuka, yakikola mu nkukutu era mukazi we teyamanya.

Abaayunga kkamera mu dduuka yabongera ssente n’abasaba bamwongeremu tekinologiya ayunga kkamera ku ssimu y’omugagga ono nga buli w’abeera asobola okulaba ebikolebwa mu dduuka era ne bakikola.

Awo we yasinzidde okukwata ‘Maama w’abaana’ n’amusiba amagulu ng’akozesa ekisipi n’alyoka amukubisa waya, n’afuna ebisago eby’amaanyi.

Omusajja ono yakoze effujjo ku mukazi era bwe yamaze okumukuba ng’akyali na ku miguwa, n’amukuba ebifaananyi ebiraga ebisago bye yamutuusizzaako mu maaso amagulu n’ebisambi.

Yakoze entegeka ezifuluma eggwanga era olwatuuse e China gy’atera okugenda okusuubula, n’alyoka ayiwako ebifaananyi ku mukutu gwa Facebook nga yeewaana bwe yabonerezza omukazi gwe yayogeddeko nti abadde afudde edduuka ‘loogi’ mw’asisinkanira abasajja ababa bamuganzizza!

EBIMUKWATAKO

Martin Jjuuko atera okweyita Mulangira alina amaduuka agasuubuza engoye mu Kampala ge yatuuma Praise Shop era n’ennamba y’emmotoka gy’avuga yassaako linnya lya Praise Shop, gwe balumiriza okukuba mukazi we Brenda Namuyomba.

Jjuuko asula Makindye era okumpi n’eddwaaliro ly’e Kiruddu we wali oluguudo lwe babbula mu mannya ge oluliko Prince Jjuuko Road era mu nnyumba omwo mw eyakubidde mukazi we.

Abatuuze ku kitundu bamwogerako bingi era wadde abamu bamuyita “Mugagga waffe” abalala bamwogerako ng’omuntu omuzibu. Jjuuko takoma kumanyibwa mu basuubuzi wabula ne mu kisaawe ky’okuyimba era abamu baamukazaako “Pulomoota” kubanga atera okussa ssente mu bayimbi ne mu bivvulu.

Jjuuko alina amaduuka ku bizimbe bisatu mu kibuga wakati okuli Ham Shopping Centre, ku Nabukeera Plaza ne ku MM Plaza ku William Street nga kuno mukazi we Namuyomba kw’abadde akolera.

Amaduuka gano gonna gatunda engoye z’abaami n’abakyala era abamu ku basajja ababadde bajja okusuubula engoye ku dduuka Namuyomba mw’abadde akola, Jjuuko b’alumiriza okumwagalira omukazi.

Okuva Jjuuko lwe yateeka kkamera mu dduuka, nti abadde yeeyisa mu ngeri enzibu eyaleetera ne Namuyomba okwongera okumutya.

Abamu ku bakyala abakolera ku kizimbe kya MM Plaza abaasabye obutaasanguzibwa mannya baategeezezza nti guno ssi gwe mulundi ogusoose nga Jjuuko akuba mukazi we nti era emirundi egimu abadde amukubira ku dduuka awo ng’abantu bonna balaba.

Baawadde ekyokulabirako ky’omulundi Jjuuko lwe yazze ekipayoppayo ng’ali ku ppikipiki n’alyoka akuba mukazi we n’akubiramu ne kaasitoma omusajja eyabadde azze okusuubula engoye ku Namuyomba.

Balumiriza nti Jjuuko alina ebbuba ery’obulabe nti era buli musajja gw’abadde alaba ne Namuyomba ku dduuka, ng’alowooza balina enkolagana ey’enjawulo.

“Kibadde kyezira musajja oyo kumulaba ng’ayingidde edduuka; so ng’ate emirimu gy’okutunda engoye gibaamu bakaasitoma abayingira okwegeza mu ngoye ze baba basuubula okukakasa ebipimo (sayizi) bye batwala nti bye bituufu.” Omu ku bakazi aludde ng’akolera kumpi ne Namuyomba bwe yategeezezza Bukedde eggulo.

BAMUGGUDDEKO OMUSANGO

Wadde Jjuuko akyali China, wabula mukazi we yamugguddeko omusango gw’okumukuba n’amutuusaako ebisago era emisango egyamugguddwaako gigwa mu ttuluba lya butabanguko mu maka.

Omusango guno Namuyomba yagugguliddewo ku poliisi y’e Salaama ku fayiro SDREF:13/26/10/2019 era kino yakikoze oluvannyuma lwa bba okusaasaanya ebifaananyi omukazi by’agamba nti byamuweebudde nnyo mu bantu.

Okusinziira ku siteetimenti omukazi gye yakoze ku poliisi, yategeezezza nti baamukuba ku lunaku lw’ameefuga ga Uganda nga October 9, 2019 nti era abadde ajjanjabwa nga talina na ntegeka kuggulawo musango, wabula bba bwe yasaasaanyizza ebifaananyi ne kimunyiga nnyo n’asalawo aggulewo omusango kubanga alina okutya nti asobola n’okutuusibwako obuzibu obusinga awo.

Waliwo abatuuze abaategeezezza nti bawulira oluvuuvuumo nti Jjuuko yaweebwa emmundu nga bagamba nti bw’aba agirina kiyinza okuba eky’obulabe eri obulamu bw’omukazi.

Jjuuko ne Namuyomba balina abaana basatu wabula obufumbo bwabwe buzze bubeeramu embirigo, okusinziira ku batuuze.

Mu bubaka Jjuuko bwe yatadde ku Facebook yamenye amannya abiri ag’abasajja b’alumiriza okuganza Namuyomba kyokka n’agattako nti waliyo n’abalala abajja nga bakaasitoma ne bamaliriza nga bafunye n’enkolagana ey’enjawulo; ekintu mikwano gya Namuyomba kye baawakanyizza ne baliyita ebbuba lya Jjuuko.

Namuyomba bwe twamutuukiridde, yagaanyi okubaako ky’ayogera ku nsonga zino. Ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakyala biwanda muliro era ababikulembera naddala abakyala bwe baalabye ebifaananyi ebyo ne bateeka obubaka ku mikutu egy’enjawulo nga baagala poliisi ekwate Jjuuko mu bwangu avunaanibwe.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi eri mu kukuhhaanya obujulizi nga bw’erinda ne Jjuuko akomewo wano akole siteetimenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...