TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine wakweyongerayo mu Kkooti etaputa Ssemateeka

Bobi Wine wakweyongerayo mu Kkooti etaputa Ssemateeka

By Alice Namutebi

Added 28th October 2019

OMUBAKA wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ategeezezza nga bwagenda okweyongerayo mu kkooti etaputa Ssemateeka okuwakanya etteeka erikugira enkungaana gavumenti mweyita okumuggulako emisango.

Bobiott1 703x422

Bobi Wine (ku ddyo) mukulu we Nnyanzi ne Eddy Mutwe mu kkooti.

Bya ALICE NAMUTEBI 

OMUBAKA wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ategeezezza nga bwagenda okweyongerayo mu kkooti etaputa Ssemateeka okuwakanya etteeka erikugira enkungaana gavumenti mweyita okumuggulako emisango. 

Bobi Wine bino yabyogeredde ku kkooti ya Buganda Road gy'akedde leero kya mu musango ogumuvunaanibwa ogwokukuba olukungaana olutali mu mateeka. 

Bobi agambye nti etteeka oludda oluwaabi lwerikozesa okumuvunaana lityoboola eddembe lye eryokukungaana n'okwogeera ekimuli ku mutima era ensonga eno gye bagenda okutwala mu kkooti ya Ssemateeka nga baliwakkanya. 

Bobi ayogedde ne ku kya pulezidenti Museveni okugenda mu Ghetto n'alonda eyali mukwano gwe Buchaman okubeera omuwabuzi Ku nsonga za Ghetto nagamba nti  Museveni akazito ke bamuteekako atandiise .

Gwo omusango ogumuvunaanibwa ogw'okkuba olukungaana mwe yali awakkanyiza omusolo gwa OTT gwongezeddwaayo okutuusa nga December 12 kubanga omu ku bawawaabirwa, David Lule tabaddewo mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards