TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Abakyala n'abavubuka mwettanire emisomo gy'ebyemikono'

'Abakyala n'abavubuka mwettanire emisomo gy'ebyemikono'

By Ponsiano Nsimbi

Added 28th October 2019

Byaruhanga yagambye nti gavumenti nneetegefu okuyamba abakyala n’abavubuka ng’eyita mu kubakwasizaako mu mirimu gyabwe era n’asaba ab’e Najjankumbi okweyambisa omukisa guno okuyiga emirimu gino.

Women 703x422

Byaruhanga ng'alambula ebimu ku bintu ebikolebwa ekibiina kya Najjanankumbi II Mordern Women Development Group. Ku ddyo ye Najjemba.

ABAKYALA n’abavubuka bakubiriziddwa okwettanira emisomo gy’ebyemikono kibayambe okwekulaakulanya n’okwetandikirawo emirimu.

Okusaba kuno kwakoleddwa omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z’ebyobufuzi, Moses Byaruhanga bwe yabadde atongoza ekibiina kya 'Najjanankumbi II Mordern Women Group' ekisomesa abakyala n’abavubuka emirimu gy’ebyemikono  ekisangibwa e Najjanankumbi.

Byaruhanga yagambye nti gavumenti nneetegefu okuyamba abakyala n’abavubuka ng’eyita mu kubakwasizaako mu mirimu gyabwe era n’asaba ab’e Najjankumbi okweyambisa omukisa guno okuyiga emirimu gino.

Mmeeya wa Lubaga, Nabbosa Ssebuggwawo yakubirizza abazadde okwagazisa abaana baabwe emisomo gy’ebyemikono kibayambe okwetandikirawo emirimu n’okweyimirizaawo.

Yabasabye okwettanira ebibiina n’okwegatta basobole okubakwatizaako okutumbula emirimu gyabwe.

Esther Najjemba omutandisi w’ekibiina kino era ssentebe w’abakyala ba NRM mu Lubaga yategeezezza nti ekigendererwa ky’ekibiina kino kuyamba bawala abaavu mu masomero nga tebamazeeko ssaako abakyala n’abavubuka abatalina mirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga