TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nja kufufuggaza abagagga abeefunyiridde okubba ettaka ly'amasomero ga Gavumenti mu Kampala - RCC Mpiima

Nja kufufuggaza abagagga abeefunyiridde okubba ettaka ly'amasomero ga Gavumenti mu Kampala - RCC Mpiima

By Musasi wa Bukedde

Added 28th October 2019

RCC Mayanja yakakasizza nga bw'atagenda kuganya mugagga yenna kubba ttaka lya ssomero lyonna erya Gavumenti mu Kampala n'awera nti ensonga ne bwe ziba zeetaaga kutwala wa Pulezidenti yennyini, ajja kutuuka.

Nv 703x422

RCC Mayanja Mpiima (asibye akakaaya) n'abamu ku basomesa n'abaddukanya essomero lya Nakivubo Blue P/S. Mu kakakooti aka bbululu ye Anges Mugisha alikulira

JAMES MAGALA

OMUBAKA wa Pulezidenti mu Kampala, Faridah Mayanja Mpiima, aweze nga bw'agenda okufufuggaza  abagagga bonna abeesomye okubba ettaka ly'amasomero ga Gavumenti mu Kampala nga bakozesa olukujjukujju.

Bino yabyogeredde ku ssomero lya Nakivubo Blue Primary School mu Kampala abayizi bwe baabadde bayolesa ebitone byabwe era nga wano abaddukanya essomero lino baamutegeezezza nga bwe waliwo abagagga abeesomye okubba ettaka ly'essomero wadde ng’ekyapa weekiri.

Wano RCC Mayanja, we yasinzidde n'abakakasa nga bw'atagenda kuganya mugagga yenna kubba ttaka lya ssomero lyonna erya Gavumenti mu Kampala n'awera nti ensonga ne bwe ziba zeetaaga kutwala wa Pulezidenti yennyini, ajja kutuuka.

Yagumizza abasomesa mu Kampala ku mbeera mwe bakolera emirimu omuli ebisulo ebitali birungi n'ategeeza nti Gavumenti ensonga zonna ezikolako nga waakubeerawo ekikolebwa okubasobozesa okuweereza obulungi eggwanga.

Wabula era ono yalabudde abazadde okukoma okuvumirira amasomera ga Gavumenti nga bwe gatasomesa n'ategeeza nti omuntu asobola okufuuka ow'amaanyi ng’ayise mu masomera ago.

Ye akulira essomero lya Nakivubo Blue, Agnes Mugisha yasabye Gavumenti okwongera okubakwasizaako ng’ebazimbira ebizimbe eby'omulembe n'ategeeza nti omuwendo gw'abayizi be balina munene nnyo ku bizimbe bye balina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.