TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasumba baagala Paapa akkirize abafumbo okukulembera mu mmisa

Abasumba baagala Paapa akkirize abafumbo okukulembera mu mmisa

By Musasi wa Bukedde

Added 28th October 2019

Ekimu ku bintu ebyabadde ebyebbugumu mu kukubaganyizibwako ebirowoozo kye ky’okukirizaa abafumbo okuyingira obufaaza batandike okukulembera mmisa naddala bifo etabeera kusaba olw’obutabaayo bafaaza.

Pope1 703x422

Paapa Francis

Bya Musasi Waffe

ABASUMBA ba Klezia abali mu lutuula olw’enjawulo e Vatican basabye Paapa Francis alowooze ku ky’okukiriza abasajja abafumbo okuyingira obusosodooti naddala mu bitundu by’amaserengeta ga  Amerika etali bawereza ba Eklezia bamala.

           Abasumba era basabye Paapa ayongere abakazi ebifo eby’obuwereza mu Klezia. Bino bye bimu ku byatuukiddwaako olukiiko lw’Abasumba olw’enjawulo olukwata ku bitundu by’omu maserengeta ga Amerika olumaze ennaku esatu.

            Abasumba baagambye nti ekitundu kya Amerika ekyo kirina ebizibu bingi omuli okunyunyuunta  abantu abazaaliranwa, okwonoona obutonde bw’ensi n’ebbula ly’Abasosolodooti.Paapa yagambye nti ajja kutunula mu nsonga zino ng’omwaka tegunagwaako.

         Kyokka okusaba kw’Abasumba naddala ku by’okukiriza abafumbo okuyingira obusolodooti mu Klezia kiyinza okuvaako obuzibu mu Klezia mu nsi yonna kuba kino tekikirizibwa.

Olukung’ana luno lwabaddemu Abasumba 184 okuva mu kitundu ekimanyiddwa nga Amazon mu Amerika era lwetabiddwaamu Abassita n’abakikiridde abantu abazaalranwa mu .

Ekimu ku bintu ebyabadde ebyebbugumu mu kukubaganyizibwako ebirowoozo kye ky’okukirizaa abafumbo okuyingira obufaaza batandike okukulembera mmisa naddala bifo etabeera kusaba olw’obutabaayo bafaaza.

Abasumba baagambye nti engeri Klezia gye yakiriza Abawule b’Ekkanisa abaali abafumbo ne bakyuka ne badda mu Klezia okubeera ne bakazi baawe, Paapa asanye addiremu abafumbo abalina empisa okuyingira obufaaza bawereze abantu ba Katonda. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza