TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bafulumizza lipooti ku poliisi n’ekitongole ekiramuzi: Emisaala gy'abapoliisi buswazzi!

Bafulumizza lipooti ku poliisi n’ekitongole ekiramuzi: Emisaala gy'abapoliisi buswazzi!

By peter ssaava

Added 29th October 2019

EKITONGOLE ky’obwannakyewa ekya Legal Aid Service Providers Network (LASPNET) kifulumizza lipooti ku nkola y’emirimu mu poliisi, abawaabi ba gavumenti, ekitongole ekiramuzi n’ebitongole ebirala ebikwatibwako ensonga z’ebyamateeka okuli n’amakomera.

Gendanange 703x422

Abamu ku beetabye mu lukuhhaana lwa LASPNET ku Serena Hotel mu Kampala.

Lipooti eno yalaze enjawulo ennene mu misaala gya poliisi n’ebitongole by’ebyamateeka ebirala okuli abawaabi ba gavumenti abazze bongezebwa omusaala n’abalamuzi naddala ab’amadaala agaawaggulu.

Lipooti yalaze nti enjawulo mu misaala kye kimu ku bivaako abamu okwekyawa ne batandika okwenyigira mu kulya enguzi.

Okuyimbula abantu ku kakalu ka poliisi n’aka kkooti bye bimu ku byanokoddwaayo ebivaako abapoliisi, abawaabi ba gavumenti n’abakozi mu kkooti okusaba enguzi.
 
Lipooti eno eyayanjuddwa omukugu, Dr. Ibrahim Kasirye yalaze obwetaavu bw’okwongera okusomesa abantu ku ntambula y’ebyamateeka n’enkwata y’emisango, okutereeza eby’emisaala gy’abakola mu bitongole by’ebyamateeka naddala ku madaala agaawansi n’okutereeza embeera mwe bakolera.
 
Akulira ekitongole kino, Dr. Sylvia Namubiru Mukasa yategeezezza nti kyannaku okuwulira abantu abamu nga bagamba nti tebakyalina bwesige mu poliisi ne kkooti.
Yawadde ekyokulabirako ky’omusibe e Luzira eyamubuuzizza nti oba asobola okugaana enguzi nga baimuwadde.
 
“ Abasibe baatutegezezza nti poliisi y’e Wandegeya y’esinga okubakwata nti era abamu bwe basangibwa nga baasiba enviiri, babakwatirawo nga bagamba nti bayaaye.
 
Abamu baagambye nti babakwatira mu bwakireereese, kyokka bwe batuuka mu kkooti ne babassaako emisango emirala ate ne bamala ku limanda ebbanga ddene.” Dr. Namubiru bwe yayongeddeko.
 
OMULAMUZI ASIIMYE VISION GROUP
 
Omulamuzi wa kkooti ejulirwamu, Remmy Kasule yagambye nti ekizibu ky’enguzi kirina okulwanyisibwa ennyo mu bitongole bino kubanga bye birina okuwa abantu obwenkanya.
 
Yasiimye kaweefube wa Vision Group n’ekitongole eky’obwannakyewa ekya Democratic Governance Facility okukuba ttooci mu bitongole bino kkooti ez’enjawulo ekyaleetera ne ssaabalamuzi Bart Katureebe okussaawo akakiiko kanoonyereze ku byalagibwa nti era lipooti y’akakiiko bagirinze n’amaddu mangi.
 
Pulojekiti gye baakoleddeko lipoota nayo ewagirwa Democratic Governance Facility (DGF).
 
Abaakubaganyizza ebirowoozo ku lipooti kwabaddeko munnamateeka Frederick Ssempebwa, Cissy Kagaba, Anatoli Mureterwa, Richard Kayiira, Musa Odoi, Winfred Ahimbisibwe nga Arthur Nsereko ye yabadde omukubiriza. Faridah Ssemyano ye yakiikiridde Judicial Service Commission.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza