TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Poliisi abavunaanibwa mu gwa Nagirinnya beefuulidde bakama baabwe

Aba Poliisi abavunaanibwa mu gwa Nagirinnya beefuulidde bakama baabwe

By Edward Luyimbazi

Added 30th October 2019

Aba Poliisi abavunaanibwa mu gwa Nagirinnya beefuulidde bakama baabwe

Kit2 703x422

Okuva ku kono D/CPL Reuben Kibikwamu, ASP Allan Okello, ASP Andrew Nizeyimana ne D/AIP Sunday Baguma nga bayingira mu kkooti ya poliisi e Nagulu.

ABAPOLIISI abavunaanibwa ku bya Maria Nagirinya beefuulidde bakama baabwe ne babaanika. Bino byaddiridde ssentebe wa kkooti eno Dennis Odongpiny okugoba abaamawulire mu kkooti ng’ategeeza nga bwe yafunye ebiragiro nti omutendera gwe baliko tebeetaagamu baamawulire.

Ensonda mu kkooti ya poliisi eno etuula e Naggulu zaategeezezza nti abaserikale abavunaanibwa bannyonnyodde nga bwe babalanga obwemage kubanga kkamera za poliisi y’e Nateete ze basinziirako okubavunaana, Pulezidenti Yoweri Museveni bwe yamala okuzitongoza, abamu ku bakama baabwe baakomawo ne basiba ekisenge we zaateekebwa.

Baasalawo ekifo ekyo okukikozesa nga batendekerawo abaserikale ab’okuddukanya ebifo byonna mu poliisi kkamera gye zaateekebwa era bwe bamaliriza okubatendeka ng’ekifo ekyo bakisiba.

Baagambye nti Nagirinya ne Kitayimbwa bwe baawambibwa nga August 28, 2019 enkeera nga August, 29, 2019 bakama baabwe bano abavunaanyizibwa ku kkamera bajja olwo ne balyoka babakwasa ebisumuluzo by’ekifo kino mu butongole.

Wano we baasinzidde okutegeeza nti tebasobola kubavunaana musango guno ate nga mu kiseera we baawambira n’okutta Nagirinya ne Kitayimbwa, ekifo tekyali mu mikono gyabwe kubanga kyali kisibe nga n’ebisumuluzo si be babirina.

Baayongeddeko nti mu poliisi waliwo ekitongole ekivunaanyizibwa ku bantu ababeera bawambiddwa olwo ne balumiriza nti Nagirinya ne Kitayimbwa bwe baawambibwa baategeeza ekitongole kino ku nsonga zino kyokka tewali muserikale n’omu okuva mu kitongole kino avunaanibwa wabula bavunaana bo abaakola omulimu gwabwe bwe baategeeza ekitongole ku kuwambibwa kuno.

Baagambye nti Nagirinya ne Kitayimbwa bwe baawambibwa waliwo bakama baabwe ab’enjawulo be baategeeza kunsonga zino kyokka ne watabaawo kye bakola. Baategeezezza nti bo bafuuse ssaddaaka nga babateekako emisango gino okwagala okusanyusa Pulezidenti Museveni.

Ssentebe wa kkooti eno, Dennis Odongpiny bwe yabuuziddwa ensonga eyamugobesezza abaamawulire mu kkooti yategeezezza nti yafunye ebiragiro okuva mu bakama be nga bamulagira nti omutendera gwe baliko tebeetaagamu baamawulire.

Yayongeddeko nti waliwo bakama be abeemulugunyizza nga bagamba nti waliwo omukutu gw’amawulire ogwateeka ebigenda mu kkooti eno obutereevu ku ttivvi ate bo nga tebakyagala.

Kkooti eno yayongezeddwaayo okutuusa olwaleero. Abaserikale abavunaanibwa bali 8 nga kuliko akulira poliisi y’e Natete ASP Mohammed Byansi, ASP Andrew Nizeyimana, ASP Allan Okello, D/AIP Sunday Baguma, CPL Samuel Owona, D/CPL Reuben Kibikwamu, PC Joshua Basaliza ne PC Deo Kitutu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...