TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gen. Katumba Wamala alabudde bakanyama ku ffujjo

Gen. Katumba Wamala alabudde bakanyama ku ffujjo

By Edward Luyimbazi

Added 30th October 2019

Minisita omubeezi ow’ebyengudo Gen. Katumba Wamala eyabade omugenyi omukulu yategeezezza nga bakanyama bwe babade babamanyidde mu kukola effujjo n’okwetaba mu ntalo. N’agamba nti engeri gye basazeewo okwegatta bagenda kubatendeka mu byokwerinda kibayambe okukuuma abantu nga tebakozesa mmundu. Yabasabye okutandikawo ekibiina kya SACCO nga gavumenti mw’ejja okuyita okubakulaakulanya

Katukanya 703x422

Gen. Katumba Wamala ng'abuuza omu ku bakanyama e Kabuusu

BAKANYAMA beemulumugunyizza ku bitongole ebikuumaddembe ebibakozesa okukuuma ekiro n’okukola ebikwekweto okufuuza abamenyi b’amateeka kyokka ne babeefuulira ne babayita abamenyi b’amateeka. 
 
Okwemulugunya kuno baakukolede ku mukolo ku wooteeri ya Tarven Woods e Kabuusu nga batongoza ekibiina ekibagatta ekya Bouncers Association Uganda
Umar Bulega omu ku batandisi b’ekibiina kino yategeezezza nti babayisaamu amaaso nga poliisi ebayita bamenyi b’amateeka mu budde bw’emisana  kyokka ng’ekiro bakola nabo emirimu gy’ebyokwerinda.
 
 N’agamba nti mukugezaako okumalawo okusoomoozeebwa kwe balina kye bavudde basalawo okwegatta baggyemu abeenyigira mu bumenyi bw’amateeka n’abo ababavumaganyisa nga bagenda kulaba ga basala amagezi okwekulaakulanya.
 
Minisita omubeezi ow’ebyengudo Gen. Katumba Wamala eyabade omugenyi omukulu yategeezezza nga bakanyama bwe babade babamanyidde mu kukola effujjo n’okwetaba mu ntalo. N’agamba nti engeri gye basazeewo okwegatta bagenda kubatendeka mu byokwerinda kibayambe okukuuma abantu nga tebakozesa mmundu.
Yabasabye okutandikawo ekibiina kya SACCO nga gavumenti mw’ejja okuyita okubakulaakulanya.
 
Gen. Salim Saleh yabawade obukadde 100 era Katumba  n’abasaba abakulembeze baabwe okubeera abalambulukufu nga baddukanya ekibiina kyabwe. Maj.Gen Elly Kayanja ye muyima w’ekibiina kino era yabasabye okubeera n’empisa. ennungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailkabongengomupiiraagulabiraeberuwekisaawe 220x290

Omutendesi Kabonge awanduse mu...

OMUTENDESI wa Katwe United FC mu Big League Allan Kabonge yeekandazze n’ava ku kisaawe ng’ayomba oluvannyuma lwa...

Thumbnailabazannyibacityoilersngabafaessanyulyekikopoekyomusanvu2 220x290

Aba City Oilers 2 batambulira...

ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo...

Genda 220x290

Abadiventi beebugira lukung'aana...

Ensi 13 ze zisuubirwa okwetaba mu lukungaana lw'aba Advent olutuumiddwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival...

Sit16 220x290

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza...

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza okuddayo okusoma

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...