TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri boodabooda gye zifuuse ez'obulabe eri abazikozesa

Engeri boodabooda gye zifuuse ez'obulabe eri abazikozesa

By Lawrence Kizito

Added 30th October 2019

SAM Katunda buli lw'alaba abayizi abagenda okutuula ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu amaziga gamukulukuta ku mutima! Mutabani we Davis Ssenyonjo, singa naye kati yeeteekerateekera bigezo bino wabula kati kitaawe yasigala kulaba ku bifaananyi mpozzi n’amalaalo we baamuziika.

Team 703x422

Najjengo ng'alaga akabenje we kaamutuusa.

Ssenyonjo yafiira mu kabenje bwe yali ku boodabooda ne bato be nga bagenda ku ssomero lya Tara Primary School e Muyenga gye baali basomera.

Akabenje akaatuga Ssenyonjo kaagwawo ku makya nga October 10, 2019 ku Nalule Road e Namuwongo nga wabula wiiki ssatu zokka okutuuka ku bigezo eby’akamalirizo.

Muganda wa Ssenyonjo, Micheal Kazibwe ne mwannyina Shivan Nanyange bwe baali ku boodabooda bo baasimattuka n’ebisago eby’amaanyi nga kati bali ku bujjanjabi.

Katunda omutuuze mu Tibaleka zooni e Namuwongo, bw'akunyumiza okukosebwa kwe yafuna ku bwongo tolema kumusaasira kubanga Ssenyonjo yamulinamu essuubi ery’amaanyi, ate n’ensimbi nyingi zimugenzeeko ng’alwana okutaasa obulamu bw’abaana be ababiri abaasimattuka.

Kazibwe ali mu ddwaaliro e Mulago gy’afunira obujjanjabi, wabula ng’eddagala lye yeetaaga lya ssente nnyingi.

Eky’amaanyi Katunda kye yamanya ku byaliwo ng’akabenje kagwawo kyali nti emmotoka eyabatomera yali kika kya Starlet era yasigala egenda nga na buli kati tebagikubangako kimunye.

Ate ye Joseph Mawejje muganda w’omugenzi Kamya Jjaggwe eyali avuga abaana bano, yagambye nti muganda we yabaleke n'omwana eyeetaaga okulabirira, ate ng’abadde abakwasizaako nga famire mu nsonga nnyingi, ekireeseewo eddibu ery’amaanyi.

Peace Najjengo omutuuze w’e Bulenga mu Wakiso, bwakunyumiza engeri akabenje akaatwala obulamu bwa nnyina Justine Nanfuma, naye ne kamuleka nga mulema gye kaakyusaamu obulamu bwe n’obwa baganda be, tolema kutonnyesa zziga.

Bye bayiseemu okuva akabenje lwe kaagwawo abittottola bwati; Nga February 26, 2019, nannyuka ku mulimu ne maama nga bulijjo.

Twakolanga ne maama e Busega we yalina ebbaala. Twannyuka ssaawa nga 6:00 ekiro ne tugenda ku luguudo okulinnya boodabooda tugende awaka nga bwe twakolanga bulijjo. Bwe twatuula, owa boodabooda n’asimbula.

Nzijukira okulaba emmotoka eyali etukubyemu ennyo amataala ne mugamba awugule ppikippiki baleme kututomera. Awo we nakoma okutegeera.

Ng'enda okuddamu okulaba ebigenda mu maaso nga tuli mu mmotoka ya poliisi etuvuga emisinde mizibu okututwala mu ddwaaliro. Ekiro ekyo twatuuka e Mulago nga nze ndimu akategeera.

Owa boodabooda yafiirawo ate ne maama olwatuuka mu ddwaaliro teyalwawo naye n’afa! Nze okugulu kwali kumenyese era saafuna mukisa kuziika ku maama.

Obulamu bwaffe bwakyukira ddala kubanga bato bange ababiri abato okuli Joshua Kyasanku ali mu siniya esooka ne Micheal Mawagajjo ali mu siniya eyookuna, nze nnina okubalabirira.

Namala ku ndiri ebbanga ddene, ne ntuuka ne ndaba nga nnina okukola wadde ng’okugulu kukyannuma, kubanga obwetaavu bwa ssente bwali bungi nnyo.

Nasanga bizinensi ya maama yacankalana dda nga yeetaaga kuzzaamu ssente esobole okutambula.

Nze eyali yeekolera, sikyasobola kukola mirimu nga nnyimiridde, bakasitooma balina kunsanga wano we ntudde era bwe batajja sikola! Kino kyakosa nnyo ennyingiza yange ate ng’omugugu gwe nnina munene. Eddagala ly’abasawo nalivaako wadde nga ndyetaaga nnyo.

Ng'enda yo ne balimpandiikira naye eddagala ly’amagumba lya bbeeyi ate ssente sizirina.

Simanyi bwe naakola kubanga okugulu nkunyigisa ddagala gganda. Ennaku ezisinga obungi nsula wano ku mulimu kubanga okutambula ku kkubo nkutya olw’entiisa gye nafuna.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...