TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ngenda kulaba ng’abavubuka ba Ghetto bafuna emirimu – Omuyimbi Kusaasira

Ngenda kulaba ng’abavubuka ba Ghetto bafuna emirimu – Omuyimbi Kusaasira

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2019

Kusasira agambye nti abavubuka naddala ababeera mu Ghetto balina okusoomoozebwa kungi nga kino agenda kukikwatako okulaba nga waakiri balina emirimu egibawanirira bakomye okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Nsambyakusaasira6 703x422

Kusasira (ku kkono) ng'atongoza ekibiina kya MAU. Ku ddyo ye Sheikh Gugwa.

Bya PETER SSAAVA

OMUYIMBI Catherine Kusaasira atandikiddewo okukola emirimu gye oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okumulonda ku kifo ky’omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Kampala.

Kusaasira abadde ku Sharing Hall e Nsambya bw’abadde atongoza ekibiina ky’abavubuka Abasiraamu ekya Muslim Ambassadors Uganda (MAU) ategeezezza nti yalondeddwa okukola ku mbeera z’abantu okuba nga zikyuka.

Asabye abavubuka okukomya okwekalakaasa kuba embeera eno erese bangi nga bafiiriddwa obulamu bwabwe ate nga n’abalala tebalina magoba ge bafuna mu kwekalakaasa.

Agambye nti abavubuka naddala ababeera mu Ghetto balina okusoomoozebwa kungi nga kino agenda kukikwatako okulaba nga waakiri balina emirimu egibawanirira okubaako kye bayingiza bakomye okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Akkaatirizza  nti nga 2021 tegunnatuuka, ayagala kulaba nga tewakyali muvubuka yeekalakasa okuggyako okulowooza ku kukola ssente n’okwekulaakulanya.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe