TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulembeze ba bodaboda basonze ku ttemu we liva

Abakulembeze ba bodaboda basonze ku ttemu we liva

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2019

ABAKULEMBEZE ba boodabooda nabo ekizibu ky’okutereeza omulimu gwabwe kibasuza tebeebase.

Compo 703x422

Habiyaremye

Joseph Habiyaremye, ssentebe wa Kampala Central Division Boodabooda Riders Co-operative Society, yagambye nti nabo basula ku bunkeenke olw’abantu abatategeerekeka gye bava abayingira omulimu gwabwe buli lunaku n’ebigendererwa ebitamanyiddwa.

Yagambye nti abantu bano empisa zaabwe zibeera tezimanyiddwa, obukugu bwabwe mu kuvuga ppikippiki tewali abumanyi, nga ne we basinziira okukola tewali amanyiiwo.

Alumiriza nti abantu bano bebavaako envuga embi ereetedde obulamu bw’abantu okutokomoka, ate era be bavaamu abamenyi b’amateeka kubanga kibeera kizibu okubalondoola olw’obutaba na bibakwatako biruamu.

Yakiikidde poliisi ensingo olw’okusiba abantu bwe bati mu mulimu gwabwe kubanga mu kusooka baagezaako nnyo okubakwata nga babatwalira poliisi, wabula ng’ebata ne baddamu okukola nga tewali abakuba ku mukono.

Yawadde gavumenti amagezi nti bw'eba eyagala okutereeza boodabooda, obuvunaanyizibwa ebukwase bo bennyini kubanga omulimu guno bagumanyi nnyo.

“Buli wa boodabooda alina okuba ne siteegi waakolera ate ng’ebimukwatako byonna biwandiikiddwa bulungi.

Abaagala okuyingira omulimu guno nabo balina okubaako siteegi we batandikira ne baggyibwako ebiwandiiko ebibakwatako nga tebannatandika kukola,” Habiyaremye bwe yagambye.

Yayongeddeko nti abantu abategekeddwa bwe bati ne batandika n’okukola ebibiina by’okutereka n’okwewola, kizibu ate okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka kubanga babeera n’ekigendererwa ate babeera bakimanyi nti ebibonerezo bikambwe.

Yannyonnyodde nti bo mu kibiina kyabwe beefubyeko okulaba nga bayigiriza bammemba baabwe okuvuga obulungi ku luguudo, n’okubafunira ebiwandiiko ebibakkiriza okuvuga ppikippiki.

Wabula agamba nti wadde kino bakikola naye enkyukakyuka gye kireeta ntono nnyo kubanga abasinga obungi tebafuna kutendekebwa mu kibuga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe