TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulabirizi bamubbyeko emmotoka nga tannagisasula ku gimalayo

Omulabirizi bamubbyeko emmotoka nga tannagisasula ku gimalayo

By Henry Nsubuga

Added 31st October 2019

Omulabirizi Luzinda bamubbyeko emmotoka nga baalinnye kikomera ne bagitwala.

Mul1 703x422

Omulabirizi eyawummula Kazinda Kizito ng'ayogera ku ssimu oluvannyum alw'okubbibwako emmotoka ye

POLIISI e Mukono ebakanye n'omuyiggo gw'abazigu abatannategeerekeka abaabuuse ne bagwa mu kikomera ky'omulabirizi w'e Mukono eyawummula, Eria Paul Luzinda Kizito ne babba emmotoka ye.

 Ekikomera ky'ennyumba y'omulabirizi mwe babbidde emmotoka ye

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango agambye nti emmotoka ya Bp. Luzinda yabbiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero bwe yagisimbye mu luggya lw'ennyumba ye munda mu kikomera n'anyingira mu nnyumba okwebaka.
 
Luzinda agambye nti emmotoka eno ebadde ya Noah nnamba UAW 393S nga ya 'grey'.
Alaze okunyolwa olw'abazigu abatakyatya wadde abaweereza ba Katonda ku ddaala ly'aliko ery'omulabirizi.

''Oba omulabirizi emmotoka eyange nayo bagibbye ekyoleka nti nange sirina bukuumi, kati abantu baabulijjo mu byalo?'' bw'ategeezezza.

 
Eky'ennaku Luzinda agambye nti yagula emmotoka eno ku nkola ya kibanja mpola ng'ayagala okutwala mu maaso omulimu gw'okubuulira enjiri ng'eby'embi kwe kuba ng'ebbiddwa nga n'ensimbi ezaagigula tannazimalayo. 
 
Omuwandiisi w'Obulabirizi bw'e Mukono Rev. Canon John Ssebudde agambye nti kyannaku nti omwaka guno ababbi beefunyiridde okubba emmotoka z'abaweereza.
Ssebudde ategeezezza nti okuva mu July, emmotoka z'abasumba 5 ze zaakabbibwa. Kigambibwa nti obumenyi bw'amateeka mu Mukono bweyongedde mu kiseera kino ng'amayumba gamenyebwa ebintu be bibbibwa.
 
Ku Ssande waliwo ggalagi y'omutuuze Hanifa Ssemakula abeera mu Canan Site ku kyalo Kituba mu muluka gw'e Mpoma mu ggombolola y'e Nama eyaggulwa mu kiro emmotoka ye ekika kya Wish namba UBB 908U eya 'grey' n'ebbibwa.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata