TOP

Bawanjagidde KCCA lwa kasasiro wa nseenene

By GODFREY LUKANGA

Added 31st October 2019

Abakulembeze n'abatuuze ba Kimwanyi Zooni mu Katanga e Wandegeya bawanjagidde KCCA ebataase ku kasasiro alimu ebyoya by’enseenene kubanga enkuba bw’ebitonnyamu ekivundu kibuutikira ekyalo.

Thomasbagonzakuddyossentebewakimwanyijpweb 703x422

Thomas Bagonza (ku ddyo) ssentebe wa Kimwanyi.

 

ABAKULEMBEZE n'abatuuze ba Kimwanyi Zooni mu Katanga e Wandegeya mu Munisipaali y’e Kawempe bawanjagidde KCCA ebataase ku kasasiro alimu ebyoya by’enseenene kubanga enkuba bw’ebitonnyamu ekivundu kibuutikira ekyalo. 

 

Ssentebe wa L.C.1 Thomas Bagonza yagambye nti sizoni y’ensenene bw’etuuka abatuuze abasinga okuzikongola bagufuula mulimu okusobola okuzifunamu era tebasobola kuziwera mu kyalo n’asaba KCCA ebaweereze emmotoka ezitwala ebyoya waakiri emirundi ebiri mu wiiki.

 

Bagonza alaze obweraliikirivu nti singa KCCA erwawo okubagyamu kasasiro alimu ebyoya by’ensenene, abatuuze boolekedde okulwala endwadde nga kolera eziva ku bucaafu. 

 

“Ensenene bwe ziyingira mu Kampala abatuuze baffe bava ku mirimu gw'okususa kawo n'ebijanjaalo ne badda mu kukongola ensenene kubanga ab’ensenene babasasula ssente eziwerako. Ebyoya bwe byegattamu enkuba etonnya ennaku zino biyinza okulwaza abatuuze” Bagonza bwe yategeezezza ku Lwokuna.

 

Bagonza yagambye nti basazeewo okuteekawo bulungibwansi ow’obuwaze buli Lwamukaaga olusembayo mu mwezi nga buli mutuuze alina okuggala bizinensi gy’akola n’amwenyigiramu nga bataddewo n’enkolo endala gye batuumye ‘longoosa wookolera’.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana