Added 31st October 2019
ONNY Mukisa ow’e Garuga olwamala okuggala ennyumba ye n’ayingira nga tannaba kukuba pulasita. Yali akooye landiroodi okumukonkona buli lunaku n’okumulangira obwavu. Wadde yali asula bubi kyokka nga musanyufu ku mutima olw’okusula mu nnyumba gye yeezimbidde ng’awonye n’obunkenke bw’okunoonya ssente za landiroodi eza buli mwezi.
ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...
OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...
OMUSERIKALE wa LDU yakubye mukama we amasasi agaamuttiddewo bwe baabadde mu kikwekweto okufuuza abanywi b’enjaga...
ABOOLUGANDA lw’omugenzi Kenneth Akena agambibwa okuttibwa Mathew Kanyamunyu balemedde ku musango gw’omuntu waabwe...
EBBUGUMU lya Ssekukkulu lyeyongedde okusituka mu Bannakampala, abagula ebintu bwe batandise okujjula mu maduuka...