TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bukedde adduukiridde aba Nyenga Boys n’ebikozesebwa mu PLE

Bukedde adduukiridde aba Nyenga Boys n’ebikozesebwa mu PLE

By Musasi wa Bukedde

Added 1st November 2019

Bukedde adduukiridde aba Nyenga Boys n’ebikozesebwa mu PLE

Kip2 703x422

BUKEDDE mu nteekateeka ey’okuyamba okutumbula ebyenjigiriza mu ggwanga edduukiridde abayizi ba Nyenga Boys Primary School n’ebikozesebwa ebinaabayisa mu kiseera ky’ebigezo bya PLE ebitandise leero.

Abayizi baaweereddwa ebikozesebwa nga ppeeni, ekkalaamu, sseeti, ffuuti empanvu, sooda abawala ne bafuna ne paadi. Miriam Nambatya, omukozi wa Bukedde olupapula oluvannyuma lwokubakwasa ebikozesebwa yagenze mu maaso n’abakubiriza okubeera abeegendereza nga bakola ebigezo n’okugoberera amateeka aganaabaweebwa.

Yasabye abayizi obutatya bibuuzo ebyo kuba bijja kuba bifaanagana ebyo bye bazze bakola. Yabajjukiza okukwata obudde. Bakeere okujja ku ssomero ku nnaku z’okukola ebigezo.

Yabalabudde okwewala abantu abayinza okubabuzaabuza mu kiseera kino kuba kijja kubakosa nga bakola ebigezo. Omukulu w’essomero lya Nyenga Boys, Fausta Namukwaya asiimye Bukedde okuvaayo okudduukirira abaana nti kuba bangi babadde tebayimiridde bulungi nga eby’okukozesa tebalina.

Wabaddewo abalina naye nga tebiri mu mbeera nnungi ate nga kizibu okusanga alina byonna.

Yeebazizza Bukedde okubawanga akatabo ka PASS PLE akafulumira mu mawulire okuva omwaka we gwatandika. Yagambye kano kabayambye nnyo okwejjukanya ebizze bibasomesebwa.

Omusomesa, Ambrose Obel yeebazizza Bukedde ne Vision Group okuvaayo ne babayambira abaana n’abasaba bongere okubayamba kuba obwetaavu bukyali bwamaanyi ng’abazadde abasinga tebalina busobozi. Yagambye nti, bazze beeyambisa akatabo ka PASS PLE era amanyi kayambye kinene abayizi abagenda okutuula ebigezo bya P7.

Omuyizi Aisha Ndagire ku lw’abayizi yeebazizza Bukedde obuyambi obwenjawulo bw’ezze ebawa era n’agamba nti bujja kukola kinene ku binaaba bivudde mu bigezo bya PLE.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’