TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Abagenyi abayite bonna baafuna dda kkaadi, Eddy Kenzo tetwamuyise'

'Abagenyi abayite bonna baafuna dda kkaadi, Eddy Kenzo tetwamuyise'

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd November 2019

'Abagenyi abayite bonna baafuna dda kkaadi, Eddy Kenzo tetwamuyise'

Logo 703x422

Kenzo ate ku ddyo ye Rema ng’aloola ne Ssebunya mu kukyala.

ABATEGESI b’okwanjula kwa Rema Namakula ne Hamza Ssebunya bategeezezza nti Eddy Kenzo tali ku bagenyi be baayise ku mukolo.

“Abagenyi abayite bonna baafuna dda kkaadi.

Olukalala lw’abagenyi twalumaliriza. Tetukyasobola kwongerako balala”, Issa Musoke, akulira akakiiko akategesi bwe yategeezezza Bukedde eggulo.

Okutangaaza kuno kuddiridde Eddy Kenzo okutuuza olukiiko lwa bannamawulire ku Lwokuna n’ategeeza nti yandyagadde okubeerawo ku kwanjula kwa Rema Namakula era ajja kuwaayo ensimbi okuyambako mu nteekateeka.

“Nja kwambala ekkanzu yange, mbeerewo ku mukolo gwa Rema bwe banaaba bampise”, Kenzo bwe yagambye.

Kyokka Issa yagambye nti tewakyaliwo mukisa kuyita Kenzo ate n’ensimbi ze tezijja kwetaagisa kubanga omukolo gwa Rema gwa njawulo ku mikolo emirala teguliiko kusonda ssente wadde okutegeka enkiiko.

Rema ajja kwanjula Dr. Hamza Ssebunya nga November 14 e Nabbingo ku lw’e Masaka.

Kenzo era yategeezezza nti ali mu bulumi bw’obutalaba mwana we Amaal Musuuza mu kiseera kino ali ne nnyina Rema mu maka ga Ssebunya. “Amaal mwana wange. Nnina okubeera naye nga kitaawe, kyokka tekisoboka.

Nkola ekisoboka okubeera n’omusaayi gwange kyokka sirina bwe ndaba Amaal”, bwe yagambye.

Maneja wa Rema, Geofrey Kayemba yayanukudde Kenzo ku nsonga eyo n’agamba: Tewali awakanya kya kuba nga Amaal mwana wa Kenzo ne Rema.

Kenzo bw’aba ayagala kulaba mwana we amanyi amakubo g’ateekwa okuyitamu. “Kenzo yaakakomawo mu Uganda.

Ennaku entono ze yaakamala z’asinziirako okulaajana olw’omwana? Omwana we ajja kumulaba era tewannabaawo amumugaana”, bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...