TOP

Kabaka akoze enkyukakyuka ssinziggu e Mmengo

By Dickson Kulumba

Added 3rd November 2019

KABAKA Mutebi alonze abaami b’amasaza abaggya 11. Ku babaddewo musanvu be basigaddewo okuli ne Kamuswaga w’e Kooki, Apollo Sansa Kabumbuli. Enkyukakyuka ziddiridde ezaakolebwa mu kabineeti ezaalimu okukendeeza omuwendo gwa Baminisita.

Unity1 703x422

Pookino Mayiga lwe yasisinkana Kabaka. Ekif: DICKSON KULUMBA

BYA DICKSON KULUMBA NE LILIAN NALUBEGA

Endala zikoleddwa mu bakulira ebitongole by’Obwakabaka okuli leediyo ya CBS eyafunye ssentebe w’olukiiko olufuzi Mathias Katamba, oluvannyuma lw’okufa kwa Godfrey Kaaya Kavuma.

Akulira ttivvi ya BBS Jonathan Muyingo yalekulidde ekifo ne kissibwamu Ssembajjwe.

Ate akulira BUCADEF Badru Sserwadda yaleseewo omulimu n’agenda okusoma nga kati balonze Muwanga okukuuma ekifo ekyo.

Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, David Lubega Mutunzi ye yagobeddwa ekifo ne kissibwamu Moses Luutu.

Oluvannyuma lw’okukyusa Abaamasaza kati enkyukakyuka eziddako ziri mu lukiiko lwa Buganda.

Waliwo ekirowoozo ky’okukendeeza ku muwendo gw’ababaka n’okululeetamu ababaka abaggya abalina obukugu obutuukana n’enteekateeka z’okutwala Buganda ku ntikko.

Mu kiseera kye kimu abaami b’amasaza bakiise mu lukiiko era bava mu masaza n’abakiise abalala.

Abaamasaza beebuuzibwako ku babaka abakolagana nabo okukola emirimu gya Ssaabasajja.

Enkyukakyuka zijjidde mu kiseera nga bangi ku Bamasaza basabye okuwummula olw’okusomoozebwa okw’enjawulo okuli emyaka gy’obukulu, emyaka gye baweerezza gattako okuba nga bakozesa nsimbi zaabwe okukola emirimu ate ng’abasukkulumye mu kukola baliko ebyabwe ebyonoonese olw’obutabiwa budde.

Abamu babadde n’okusoomozebwa kw’entambula okuli enguudo embi ezisensebudde emmotoka zaabwe. Olw’ensonga eyo Katikkiro yabeebazizza olw’okukola obuteebalira.

Katikkiro yagambye: Kabaka asiimye obuwereeza bw’abaami abawumudde obubaddemu obuyiiya, obunyiikivu n’okukozesa okwagala.

Mu myaka etaano bukya balondebwa wabaddewo okuddaabiriza embuga z’amasaza, okutuuza enkiiko ku masaza n’okuluhhamya abaami ku mitendera egy’enjawulo.

Kabaka era yabasiimye okukunga Obuganda okubugiriza Omutanda ku mikolo, okuwagira ettoffaali, okuwagira enkola ya ‘Luwalo Lwaffe’, okwenyigira mu nteekateeka ya ‘Mmwaanyi Terimba’, n’okukola enteekateeka z’omupiira gw’amasaza.

ABALONDEDDWA KU BWAMI

1 Kyaddondo - Agnes Nakibirige Ssempa yakakasiddwa ku bwa Kaggo.

Abadde akuuma ekifo ekyo bukya Patrick Mugumbule alondebwa ku kya Sipiika wa Buganda.

Amyukibwa Hajji Ahmed Magandaazi ne Ronald Mpagi era nnannyini ssomero lya Good Times Kawaala.

2 Ssingo - David Nantagya ye Mukwenda. Amyukibwa Noah Kantunsimbi, Reginah Nasseremba ne John Vianney Kasumba.

3 Kyaggwe - Elijah Boogere ye Ssekiboobo asikidde Alex Kigongo. Amyukibwa David Matovu Kato ne Rashid Luswata Kanaakulya.

4 Mawokota - Gabriel Kabonge ye Kayima asikidde omugenzi David Sekyeru. Amyukibwa Patrick Ssemalawa ne Godfrey Pizaroh Mujjuzi.

5 Gomba - Celestino Jackson Musisi y’e Kitunzi. Amyukibwa Joseph Kasibante ne Edward Mubiru Musisi.

6 Buddu - Jude Muleke ye Pookino asikidde Mayiga. Amyukibwa Rose Nalubowa,Payineto Yiga ne Mwalimu Kato Abddallah.

7 Bugerere - James Ssempigga ye Mugerere ng’amyukibwa Bashir Ziraba ne Patrick Mugerwa.

8 Busujju - Mark Jjingo Kaberenge ye Kasujju ng’amyukibwa Christopher Nsimbe ne Godfrey Mutebi.

9 Bulemeezi - Bafunye Kangaawo Ronald Mulondo eyali omuzira mu Bazira. Amyukibwa Margaret Mutyaba ne Aron Ddamulira Nkonge.

10 Buluuli - Gerald Kimbugwe Kyanjo asigaddeyo ng’amyukibwa Dr. Joseph Kirabo ne Abddallah Ssebuggwaawo.

11 Buvuma - Obwa Mbuubi buweereddwa Lawrence Kayiza ng’amyukibwa Micheal Wamala Mboowa ne Richard Ssemanda.

12 Busiro - Charles Kiberu Kisirizza asigadde ye Ssebwana. Amyukibwa Aloysius Ssemmanda ne Vicent Kayongo abadde omwami w’eggombolola Ssaabagabo Nsangi.

13 Kabula - David Luyimbaazi Kiyingi ye Lumaama omuggya. Amyukibwa Margaret Kamunaana ne Joseph Mutyaba Mukasa.

14 Butambala - obwa Katambala buweereddwa Hajj Sulaiman Magala ssentebe w’olukiiko lw’omupiira gw’ebika bya Buganda. Amyukibwa Hajj Musa Lubega ne Samuel Ndugga.

15 Buweekula - Immaculate Nantaayi Kafeero asigadde akutte enkasi. Amyukibwa Andrew Ssempijja ne Ssalongo Elly Mbalirwa Ssekayita.

16 Kooki - Kamuswaga takyusibwa olw’ennono ye ey’omukulembeze atwala Essaza lya Ssaabasajja ery’e Kooki. Kyokka Kabaka yamulondeddeko abamyuka basatu; Gertrude Nakalanzi Ssebuggwaawo, Omulangira Nelson Lubambula ne Ssaalongo Eriabu Kiggundu.

17 Mawogola - Muhammed Sserwadda y’akulembera Mawogola nga Muteesa ng’amyukibwa Suzan Namukwaya ne Damiano Kamwaga. 18 Ssese - Augustine Kasirye ye Kweba ng’amyukibwa Christopher Byekwaso ne Edward Ssebatta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza