TOP

Bakutte abawala 2 ku by’okubba ebbujje

By Moses Lemisa

Added 4th November 2019

OMWANA ow’emyezi 11 eyab­biddwa akwasizza abawala babiri abatuuze ne babawaako obujulizi nti baasoose mu kafubo n’eyabbye omwana.

Buje1 703x422

Nanfuka (ku kkono) ne Nakazibwe abaakwatiddwa. Mu katono ye Nannyonga gwe babbye.

Bya MOSES LEMISA

OMWANA ow’emyezi 11 eyab­biddwa akwasizza abawala babiri abatuuze ne babawaako obujulizi nti baasoose mu kafubo n’eyabbye omwana.

Rema Nanfuka 19, ne Juliet Nakazibwe 21 abatuuze b’omu Ssebina zooni mu muluka gw’e Makerere III mu munisipaali ‘e Kawempe be baakwatiddwa poliisi y’oku Kaleerwe. Kigam­bibwa nti baaluse olukwe n’omuwala gwe bamanyiiko erya Haisha ne babba Kurusumu Nan­nyonga ow’emyezi 11, muwala wa Jenifer Nakyanzi 49 ne Sulaiman Kazibwe abatuuze b’e Nabweru mu Kabira zooni.

Juliet Namulindwa omu ku bat­uuze yategeezezza nti Nanfuka ne Nakazibwe basabira ku kkanisa emu esangibwa e Makerere Kavule era Nakazibwe gye yava ng’anoonya amuyamba okumu­suza n’omwana we.

Kigambibwa  nti Nakyanzi yamukwatibwa ekisa n’amukkiriza okusula mu kibanda mw’akolera.

Maama w’omwana yagambye nti Nanfuka n’omuwala omulala eyategeer­ekeseeko erya Haisha baakyalid­de Nakazibwe ne babaako bye boogera okumala akaseera.

Kigambibwa nti, nga ba­malirizza okwogera, Haisha yasanze Hillda Nakanwagi 11, ng’atambuza omwana n’amulimbalimba nti bagende bombi mu kibuga agulire om­wana engoye.

Bwe baatuuse mu ppaaka enkadde n’amutuma ebyokunywa ku dduuka ye n’abulawo n’omwana. Nakan­wagi yagambye nti maama we yamulagidde atambuze omwana amusirise kubanga yabadde akaaba.

Yagambye nti awo Haisha we yamusangidde n’amusaba amuwerekereko mu kibuga agu­lire omwana obugoye.

“Olwokuba mbadde naaka­mulabira ennaku bbiri ng’ajja ne banyumya ne Nakazibwe, nakki­rizza ne muwerekera,” Nakanwagi bwe yategeezezza. Bwe twatuuse mu ppaaka enkadde n’ampa ssente 1,000/- ngende ngule ekyokunywa kyokka nagenze okudda nga taliiwo. Nakyanzi, maama w’omwana yagambye nti, “Nakazibwe gwe nayamba ye yaluse olukwe okubba omwana wange kyokka Haisha eyamututte mbadde naakamulabira ennaku bbiri. Isma Nsanja, omumyuka wa ssentebe wa Ssebina zooni

 yategeezezza nti ba­lina obuzibu bw’abantu abagenda mu kkanisa eri okumpi n’ekitundu kyabwe nga balina ebig­endererwa birala nnyo.

Yasabye abatuuze okukomya okwesiga abantu be batamanyi n’okwanjula abagenyi baabwe ku LC kubanga abaakwatiddwa mu lukwe lw’okubba om­wana tebamanyiddwa mu kitundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...

Skysportsrafaelbeniteznewcastle4707489 220x290

Tewali agenda kulemesa Liverpool...

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni...