TOP

Kkamera zikutte abazigu

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2019

Kkamera zikutte abazigu!

Kip2 703x422

KKAMERA ezaawanikibwa ku bisenge ziraze engeri ababbi gye baalumbye ebyalo ne banyagulula amaka ag’ebikomera agawerako ne basobya ne ku bakazi.

Obutambi bwa kkamera zino Bukedde bwe yafunyeeko kkoppi, bulaga ababbi abeebijambiya engeri gye baalumbye ebyalo bibiri ebiriraaniganye; Kiteezi ne Masooli e Kasangati mu Wakiso. Ebyalo bino, baabirumbye ku nnaku za njawulo eziddirihhana.

Ekibinja ky’ababbi bano, kigambibwa nti kyabadde kikulemberwa Farouq Ssejjemba eyakubiddwa amasasi agaamuttiddewo nga balumbye e Kiteezi okunyagulula omusuubuzi wa sipeeya ewa Kisekka, Bosco Sserwadda.

Bano, baasoose kulumba maka ga mukozi wa kitongole ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amazzi mu ggwanga ekya National Water and Sewerage Corporation (NWSC), Moses Bigabwa Ategyeka e Masooli nga October 18, 2019. Sandra Bigabwa nga naye akolera NWSC yagambye nti muka Bigabwa yabategeezezza nti, ababbi baabalumbye ku ssaawa nga 8:00 mu ttumbi.

Yagambye nti, baabadde bangi nga basoba mu 10 era baabeekanze bali mu kisenge kyabwe batadde ku bba ejjambiya bamukanda ssente. Yagambye nti, okuyingira ennyumba yaabwe, ababbi baasala ssehhenge ku kikomera ne babuuka ne bagwa munda olwo ne balyoka basala oluggi lw’emiryango ne bayingira ennyumba. “Baze teyabadde na ssente nga nze nnina 37,000/- zokka ne nzibawa kyokka ne bagamba omwami nti bw’aba tabawadde ssente bagenda kumutta.

Teyabadde na kyakukola n’akwata essimu n’ayingira mu akawunti ye mu Standard Chartered Bank n’aggyayo ssente ne bazisindika ku ssimu ye,” Muky. Bigabwa bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, ababbi we baayingiridde ekisenge, essimu zonna zaabadde ziri ku ‘charger’ ne baziwamba eya bba okugimuwa, baagimuwa baagala aggyeyo ssente aziteeke ku ssimu ye oluvannyuma ne bamusaba abawe n’ennamba ey’ekyama gy’akozesa okuggya ssente ku ‘Mobile Money’.

BAASOBEZZA KU MUWALA Bigabwa agamba nti ababbi bwe baayingidde abamu ne bagenda mu kisenge kyabwe abalala ne basaasaana mu bisenge ebirala era eno gye baasoberezza ku muwala omu. “Ekisinga okunnuma wadde saalabye feesi zaabwo naye bwana buto nnyo myaka 18- 20.” Bigabwa bwe yategeezezza.

Agamba nti bwe baamaze okubabba, ye baamusibye emiguwa ku mikono n’amagulu ne bagasiba gokka, bba baamusibye akandooya emikono ne bagituggira ku magulu ne mutabani waabwe ow’emyaka nga munaana ne bamusiba emikono n’amagulu n’omukozi ne bamutugga emiguwa.

Yagambye nti, poliisi yatuuse ku ssaawa 9:30 ng’ababbi badduse ne bagezaako okubawondera ne bababula.

Ewa Bigabwa babbyeewo essimu nnya, akuuma akatereka amasannyalaze ne bbaatule yaakwo (inverter), TV, Play Station abaana kwe bazannyira emizannyo ne laptop kwe baagatta n’emmotoka Toyota Premio UAX 784J gye baakozesa okudduka kyokka oluvannyuma ne bagisuula e Ttula gye baagisanze.

Bigabwa yaddukidde ku poliisi y’e Masooli n’aggulawo omusango gw’okubbisa eryanyi n’okusobya ku muwala ku fayiro SD 04/18/10/2019. Oluvannyuma fayiro yaweerezeddwa e Kasangati okwongera okunoonyereza. Bigabwa yagambye nti, ababbi balabika basooka kukola kwekenneenya maka ge bagenda okubba nga ne nnyini go bamumanyi bulungi kubanga, baayitira mu kikomera kya muntu mulala okugwa mu kyabwe kyokka ekikomera kye baayitiramu tewali kintu kyonna kye babbamu.

BALUMBA AMAKA AMALALA Nga October 20, 2019, ekibinja kye kimu kyalumbye amaka ga George Lwanga asula ku kkubo eriva e Kiteezi okugenda e Masooli ne bamubba emmotoka ekika kya Toyota Noah n’ebintu ebirala mu nnyumba.

EWA SSERWADDA BAASOOKA KUKETTAWO

Brenda Nassaka muka Bosco Sserwadda yagambye nti, ababbi balabika baasooka kukola kuketta ku maka gaabwe n’abantu abeetooloddewo. Kkamera ezaakutte ababbi nga balumbye amaka ga Sserwadda ziraga ng’ababbi basitudde munnaabwe Farouq Ssejjemba eyattiddwa ng’alingiza omukuumi Lauben Mumbere eyabadde akuuma amaka gano. Ababbi basatu bwe baamaze okulingiza omukuumi, ne beetooloola emmanju w’ennyumba era kkamera zibalaga.

Emmanju w’ennyumba ya Sserwadda, waliyo olusuku bw’oluvaako, waliwo muliraanwa eyazimba ennyumba n’ateekako ekikomera kyokka tannaba kuteekako ggeeti. Mu kikomera mulimu eddaala era ababbi bwe beetoolodde, baagenze mu kikomera ne bakima eddaala.

Eddaala lino, kkamera zibalaga nga balisimba ku kisenge Ssejjemba n’alinnya waggulu n’asooka alingiza bw’amala alabika ng’akka wansi n’atandika okusala ssehhenge ali waggulu ku kikomera.

Ssejjemba yayingidde mu nnyumba nga bw’akuba ttooci era poliisi eyabadde eyitiddwa yamusanze akyali mu nnyumba mu kukuba amasasi ng’agezaako okudduka, agamu gaamukutte n’agwa wabweru w’ekikomera n’asigala ng’adduka poliisi n’emulundoola gye yabadde addukidde ne bamwongera okutuusa lwe yafudde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards