TOP

Juice Jussy bamutikkidde

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2019

Omuyimbi Juice Jussy emisomo agikubye oluku mu mutwe

Juicejussy1 703x422

Juice Jussy (ow'okubiri ku kkono) ne banne abatikkiddwa

Nga bwe bagamba nti sossolya bw’atafa atuuka ku lyengedde, lyabadde ssanyu jereere ng’omuyimbi Juice Jussy amalirizza emisomo gye mu by’emisono.

Jassy eyakuyimbira y’omu ku bayizi abatikkiddwa mu bye misono (fashion and Design) ku ttendekero ly’ebye mikono UYDEL e Bwaise.

Wakati mu ssanyu yagambye ne yeewaana nti “ekkalaamu terimba kati mulindirire bibala..”

 uice ussy nga agabula abantu keeki Juice Jussy nga agabula abantu keeki.

Agamba amaanyi n’obudde obusinga abadde abumala mu kusoma naye kino ke kiwedde kati ye ssaawa asumulule omuziki.

Okukakasa kino, Jassy y’omu ku basanyusizza bayizi banne ku mukolo nga batikkirwa yabakubye emiziki egyabacamudde.

Yeebazizza emikwano gye abamubeereddewo kubanga waliwo ekiseera we kyatuuka nga azitowereddwa kyokka bano be babadde bamuzaamu amaanyi

Agamba nti okusinzira kubya somye alina ekirooto ekyokutandikawo ekifo wakolera n’okutunda emisono gy’engoye ssaako saluuni era akubiriza abavubuka okwetanira eby’emikono.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...