TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Abasama balaze pulaani y’okulya ssente n’okujooga mu biseera bya Ssekukkulu

Abasama balaze pulaani y’okulya ssente n’okujooga mu biseera bya Ssekukkulu

By Martin Ndijjo

Added 4th November 2019

Abasama batandise okukuba pulaani y’okulya ssente n’okujooga mu gandaalo lya Ssekukkulu. Heavy ow'e South Africa alaze omudidi banne ne beesika.

Heavy1 703x422

David Asiimwe (Heavy) ng'alaga omudidi

NGA tusemberera okumalako omwaka, Bannayuganda abakolera emitala w’amayanja bayite ‘Abasama’ babeera mu keetalo nga beesunga okuyingirawo mu ggwanga okulya obulamu mu ggandaalo lya Ssekukkulu n’okucakaza Bannakampala.

David Asiimwe amanyiddwa nga Heavy okuva e ‘Sausi’ (South Africa) talinze basama ab’amanya  abamanyiddwa mu nsike ky’okujooga kulangirira nteekateeka zabwe ez’omulundi guno,

Agamba ababadde bawakana nti talina mpapula ng’olwo ategezza ssente ku mulundi guno bagenda kukakasa kubanga azitowa ekimala alinze December asumulule.

 eavy wakati ne mikwano gye Heavy (wakati) ne mikwano gye.

Omanyi loodi ono newankubadde ‘akantu’ akaweza ng’atera n’okutambulira mu mmotoka ez’ebbeeyi okuli Hummer, Range Rover sport, BMW n’enddala, si musajja wa masappe era bangi babadde bamwebuuza.

Agamba nti tazze kuvuganya na muntu yenna mu bya ssente wabula ye azze kucakala ne bannayuganda abamanyi okulya ensimbi nga bwatambuza ne bizinensize eddala omuli ey'okuzimba amayumba.

ayongerako nti yalumwa nnyo Ivan Ssemwanga okufa kubanga y'omu ku baatandika enkola y'okulya ssente wabula omutima ogwo gwamusigalamu era y’ensonga lwaki ye ne banne okuva e ‘Sausi’ beesunga nnyo  ggandaalo lya Ssekukkulu

E South Africa abeera Gordon's Bay mu Cape Town ate wano mu ggwanga asula Ntinda mu ministers’ village ng’azaalibwa Itendero mu Shema disitulikiti.

Ye nannyini kkampuni ya Itindero Boys General Trading etunda n’okupangisa mmotoka ez’ebbeeyi nga n’abasinga okuzipangisa be bayimbi n’abazannyi ba firimu abazikozesa mu ntambi zaabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...