TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka Lubyayi agabidde aba boodabooda b'e Kayabwe ppikippiki

Omubaka Lubyayi agabidde aba boodabooda b'e Kayabwe ppikippiki

By Paddy Bukenya

Added 4th November 2019

Lubyayi bwe yabadde akwasa ssentebe w’aba boodabooda, Harunah Kiggundu ppikippiki eno abakubirizza okukekkereza ssente n’okutereka nga y’engeri yokka gye bayinza okuyitamu okukulaakulana.

Lubyayingaakwasaababodabodanambaplate 703x422

Lubyayi ng'akwasa aba boodabooda nnamba plate za ppikippiki gye yabawadde.


OMUBAKA awadde abagoba ba boodabooda ppikippiki beekulaakulanye n’abakubiriza okukekkereza n’okukolagana n’abeebyokwerinda okulwanyisa obutemu ku baboodabooda.

Mu kaweefube w’okulwanyisa obwavu mu bavubuka, omubaka wa Mawokota South, John Bosco Lubyayi awadde abagoba ba boodabooda ku siteegi y’e Kayabwe ppikippiki empya n’abasaba okugikozesa obulungi bafunemu amagoba bagulemu endala bakulaakulane.

Lubyayi bwe yabadde akwasa ssentebe w’aba boodabooda, Harunah Kiggundu ppikippiki eno abakubirizza okukekkereza ssente n’okutereka nga y’engeri yokka gye bayinza okuyitamu okukulaakulana kyokka n’abasaba okukolagana obulungi n’abeebyokwerinda okusobola okulwanyisa obutemu bw’aba obususse n’obubbi bwa ppikippiki.

Ssentebe Kiggundu asiimye Lubyayi olw’enkulaakulana ng’ayita mu kugabira ebibiina by’obwegassi n’okubabangula mu byenfuna n’asaba poliisi okukangavvula buli gwe baba bakwatidde mu bubbi bwa ppikippiki okumalawo obutemu.

Obubbi bwa ppikippiki mu kitundu ky’e Kayabwe bususse era abantu abasoba mu bataano be baakattibwa ne bababbako ppikippiki zaabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...