TOP

Mulago atubidde n'abalwadde abaabulwako abaabwe

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 4th November 2019

EDDWAALIRO ly'e Mulago litubidde n’abalwadde abaletebwa okuva mu bitundu ebyenjawulo nga bafunye obubenje nebizibu ebirala.

Mulago2 703x422

Ono tasobola kwogera, naye nga y'omu ku balwadde abakyalemedde mu ddwaaliro e Mulago. Abantu be tebamanyiddwa.

Bya HENRY KASOMOKO

 EDDWAALIRO ly'e Mulago litubidde n’abalwadde abaletebwa okuva mu bitundu ebyenjawulo nga bafunye obubenje nebizibu ebirala.

 Abalwadde bano abamu baaletebwa  poliisi okuva mu bitundu gye bafunira obubenje  n'ebizibu ebirala ng'abamu batuuka kutuusibwa mu ddwaaliro ng’abantu baabwe tebamanyi kyabatuukako.

ulius ugisha ali ulago mu ddwaaliro gyamaze ebbanga lya wiiki nnya no tayogera  kyamutuukako wadde okwogera ekitundu gye yava
 

Julius Mugisha ali Mulago mu ddwaaliro gy'amaze ebbanga lya wiiki nnya. Ono tayogera kyamutuukako wadde okwogera ekitundu gye yava.

 

Abamu ku balwadde abaakyalemedde mu ddwaaliro e Mulago kuliko Paul Baliyo, Julius Bamugisha, Juliet, Musa Kyeyune, John Katulamu, Focus Nsingimana, Joseph  Lwanga,  Haruna Mugerwa, Ronald Agaba, Muhammad Kanyike ne Sanyu Betty Namatovu.

 no tayogera era amanyiddwaako limu lya uliet aye ali ulago
 

Ono tayogera era amanyiddwaako limu lya Juliet. Naye ali Mulago.

 

 Abasinga embeera yaabwe egenze erongooka olw’obujjanjabi bwe bafunye abalala abazirakisa abazze nga babadduukirira mu bikozesebwa ebitali bimu  ebibasobozeseza okukuba ku matu.

ucus singimana agamba nti  yaggwa mu babbi bweyali ava okusubula mukene ku bizinga naddamu okutegeera ngali mu ddwaaliro
 

Fucus Nsingimana agamba nti yaggwa mu babbi bweyali ava okusubula mukene ku bizinga naddamu okutegeera ng'ali mu ddwaaliro.

 

Abasawo bagamba nti engeri ekifo ky'eddwaaliro gye kiri ekifunda ng’abalwadde bangi baleetebwaayo n'okufuna obujanjabi, basanze obuzibu bunene ku balwadde bano abatalinaako baabwe ekitadde abasawo n'abakozi abalala ab'eddwaaliro ku buzibu bw'okubayamba nga babaliisa, okubanaaza, okubatwala emanju n'ebirala bye bagamba nti bigootaanya enzirukanya y'emirimu ku ddwaaliro lino.

 Musa Kyeyune tamanyi kyamutuukako, yeesanga ali muddwaaliro.

Bagambye nti abalwadde bano waliwo abaleetebwa nga bayi ne bajjanjabibwa ne batereera kyokka nga bakyagaanidde mu ddwaliro olwokulemererwa okuzuula abantu babwe nebasaba abantu bonna babulwako abantu bababwe okugenda  mu ddwaaliro okulaba nga bakebera mu balwadde bano baludde mu ddwaaliro bebalina.

 ulius yamugisha naye ali ulago talinako babe Julius Byamugisha naye ali Mulago talinako babe.

 

Abasawo bategeezezza nti abalwadde bano olumala okubakolako baasalawo okubaweereza mu waadi ez'enjawulo okusinzira ku kizibu kye baba nakyo.

sanyu etty amatovu agamba nti yagwa ku kabenje  naleetebwa mu ddwaaliro  e ulago kyokka ngamazeeyo omwezi gumu nekitundu aye taliiko mujjanjabi
 

Ssanyu Betty Namatovu agamba nti yagwa ku kabenje n'aleetebwa mu ddwaaliro e Mulago kyokka ng'amazeeyo omwezi gumu n'ekitundu. Naye taliiko mujjanjabi.

 

Abalwadde abasinga bwe babuuzibwa ebikwata ku famire zaabwe babeera tebabijjukira ne basaba abantu bonna bali eyo nga baabulwaako abantu baabwe okugenda e Mulago.

 

 aruna ugerwa  agamba nti   akabenje akamutuusa ku  kitanda yakafunira mu amapala  wabula ngabantu be bali  awolo ugazi
 

Haruna Mugerwa agamba nti akabenje akamutuusa ku kitanda yakafunira mu Kamapala wabula ng'abantu be bali Kawolo Lugazi.

 

  no naye akyali ulago
 

Ono naye akyali Mulago.

 

uhammad anyike  naye  ali mu waadi ya ba magumba taliiko babe
 

Muhammad Kanyike naye ali mu waadi ya ba magumba taliiko babe.

 

aul aliyo  naye  akyatubidde mu  ddwaaliro e ulago
 

Paul Baliyo naye akyatubidde mu ddwaaliro e Mulago.

 

 no  naye  yasangiddwa  ngali mu  ddwaaliro awajanjabirwa abamagumba
 

Ono naye yasangiddwa ng'ali mu ddwaaliro awajanjabirwa ab'amagumba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

EMIKOLO gya Rema Namakula ng’ayanjula Dr. Hamza Sebunya gigasse ekika ky’omuyimbi ono.

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...

Unity0 220x290

Ebirabo Hamza bye yatutte mu kwanjula...

ABA famire ya Rema Olwokutaano baalumazeeko beetala oluvannyuma lw’okugabana ebintu ebyaleeteddwa mu kwanjula kwa...

Kusasa 220x290

Aba NRM temunnwanyisa - Kusasira...

OMUYIMBI Catherine Kusasira eyaakalondebwa ku buwabuzi bwa Pulezidenti ku nsonga za Kampala asabye abakulembeze...