TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bbanka enkulu eranze emirimu 40 abantu 4,641 ne bayiika

Bbanka enkulu eranze emirimu 40 abantu 4,641 ne bayiika

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2019

Bbanka enkulu eranze emirimu 40 abantu 4,641 ne bayiika

Tip2 703x422

Abaasabye emirimu nga basimbye ennyiriri e Kansanga.

EBBULA ly’emirimu mu ggwanga livuddeko abantu abasoba mu 3,000 okweyiwa ku Wonder World e Kansanga okusobola okufuna emirimu 40 egy’okukola mu Bbanka enkulu eya Uganda.

Bano baasunsuddwa mu 4,641 abaasaba emirimu egyalangwa. Enkuba eyatonnye n’omusana ogwayase ku Lwomukaaga byabaggweereddeko nga tewali aseguka mu nnyiriri ze baasimbye nga balindirira okusunsulwa. 

Zaagenze okuwera essaawa 12:00 ez’oku makya ng’abasinga baasimbye dda ennyiriri. Yintaviyu zaatandise ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo ne ziggwa ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi. 

Dr. Jan Tibamwenda, avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi mu Bbanka enkulu eyakuliddemu okusunsula kuno yategeezeeza nti baayisa ekirango mu mawulire ne ku mitimbagano gimukwanira wala (social media) wakati wa April 13, 2019 ne July 3, 2019 nga baagala abakozi 40. 

Baali beetaaga abalina ddiguli nga baayitira mu ddaala erisooka n’eryokubiri era abantu 4,641 be baasaba emirimu ne basunsulamu 3,162. Bano be baakoze yintaviyu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga