TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akeetalo mu maka awagenda okubeera okwanjula kwa Rema

Akeetalo mu maka awagenda okubeera okwanjula kwa Rema

By Ponsiano Nsimbi

Added 4th November 2019

Ku kyalo Nabbingo mu Bataka omukolo gye gutegekeddwa, baayise abatuuze 15 bokka!

Rehma1 703x422

Rema (wakati) ne ba maama be. Mukyala Mabiriizi ku kkono. Baali ku mukolo gw'okukyala kwe, nga October 9, 2019.

Bya PONSIANO NSIMBI

MU maka awagenda okubeera okwanjula kw’omuyimbi Rema Namakula ne bba Hamza Sebunya embeera ya keetalo.

BukeddeOnline yatuuseeko mu maka gano n'esanga ng’ekifo kiri mu kuyooyootebwa, abasiizi ba langi, abayoola kasasiro, abazimbi abakola ku by’okwerinda abasaawa amakubo agatuuka mu maka gano nga buli omu ali keetalo.

ema ne amza ku mukolo gwokukyala kwabweRema ne Hamza ku mukolo gw'okukyala kwabwe.

 

Amaka gano agatemya ng’omuntu ga mwami n’omukyala Francisco Ssemwanga nga gasangibwa Nabbingo mu Bataka era ng’omukyala yeyanjudde nga "maama wa Rema."

Okuyingira mu maka gano osooka kulaba asikali era ng’ono okukiriza okuyingira alina okufuna olukusa okuva ewa mukamawe. 

Ensibuko ya Rema etabudde abaamukuza
 maka amatiribona awagenda okuba emikolo gyokwanjula kwa ema e abbingo Amaka amatiribona awagenda okuba emikolo gy'okwanjula kwa Rema e Nabbingo.

 

 Emirimu gy'okuyooyoota gugenda bukwakku.

Amaka gano gaazimbibwa mu ngeri ya njawulo era nga galina ggeeti bbiri ennene ng’emu yeyambisibwa abasula mu maka gano ate endala abagenyi ababa bayitiddwa ku mikolo egy’enjawulo.

Ng’amaka agazimbibwa ku pulaani, omuntu ali ebweru tayinza kulaba kiri munda kubanga ekikomera kiwanvu ddala nga bwobeera ebweru ennyumba oba ogirabako kitundu kya waggulu kyokka.

 

 

‘’Enteekateeka zonna zitambula bulungi kati tulinze lwa November 14, 2019 kyetinde ‘’Omu ku booluganda lwa Rema bwe yategeeezezza

Yakkaatiiriza ng’omutu atalina kkaadi bwatagenda kukirizibwa kwetaba ku mukolo guno nga nenyambala ya bantu bonna erinaokubeera ng’ewesa omukolo ekitiibwa nga ku kino ne bannamawulire abafuna kkaadi abasabye okugoberera enjambala ey'enoono.

Abagenyi basuubirwa okutandika okutuuka ku ssaawa 5:00 ez’okumakya.

Omukolo gw'okukyala kwa Rema mu bujjuvu
 kikomera kyamaka awagenda okuba okwanjula kwa ema

 

Ekikomera ky'amaka awagenda okuba okwanjula kwa Rema.

 

 kikomera nakyo kiddiddwaamu
 

Ekikomera nakyo kiddiddwaamu.

 

AB’OKUKYALO 15 BAYITIIDDWA

"Maama wa Rema" yategeezeza nga bwe bayise abatuuze 15 nga bano bebamu ku mikwano gya famire eno.

Olw'embera y’omukolo tetusobola kuyita buli omu era tusaba abataayitiddwa okutusonyiwa.

 lujja lugazi era walabika okunyumira emikolo Olujja lugazi era walabika okunyumira emikolo.

 

Ssentebe w'ekyalo, Godfrey Mugerwa yagambye nti y’omu ku bagenyi abayite ku mukolo guno nga ne kkaadi yagifuna dda kyokka yagambye nti okusinziira ku kkaadi gyalina eriko ennamba y'emmeza kwalina okutuula nga kijja kuba kizibu omuntu ataayitiddwa okugwetabako.

Maneja wa Rema ayogedde ku biriwo: 'Rema yayisiddwa bubi ku bigambo bya Muzaata'

 

Rema bwampita ku mikolo ng'enda - Kenzo

 

 

Ebirala ku Rema, Kenzo ne Hamza

Rema alonze olukiiko olutegeka emikolo n'omwami we omupya

Rema ayogedde ne Kenzo ku ssimu

Okukyala kwa Rema Namakula mu bifaananyi

Hamza asitudde abagagga ng'akyala ewa Ssenga wa Rema

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...