ABAYIZI abaliko obulemu abasomera mu Tukore Davide mu ggombolola y’e Nyakayojo e Mbarara abaakoze ebigezo bya P7 bagamba nti embeera gye balimu tejja kubalemesa kusoma n’abamu okufuuka badokita.
Pofia Amumpiire ng’ono atambulira mu kagaali eyasangiddwa ng’ava okukola ekigezo ky’okubala yagambye nti talina kubuusabuusa ebigezo ajja kubiyita era ayagala kubeera dokita.
Amumpiire yagambye nti ayagala kugenda mu ssomero eryamaanyi nga kino kijja kumuyamba okutuukiriza ekirooto kye eky’okubeera dokita ajjanjabe abantu.