TOP

Omukka gugobye abantu mu kibuga Dehli

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2019

GGWE akyali mu Uganda ng’olina omukka gw’ossa weesuneko. E Buyindi abantu boolekedde okufa ekiziyiro ate abanaasimattuka bafune ebirwadde ebiva ku kussa empewo ejjudde kacica.

Empewoindia2a 703x422

Abaana nga beesabise ennyindo

GGWE akyali mu Uganda ng’olina omukka gw’ossa weesuneko. E Buyindi abantu boolekedde okufa ekiziyiro ate abanaasimattuka bafune ebirwadde ebiva ku kussa empewo ejjudde kacica. 
 
Ab’ebyobulamu balagidde abantu okweggalira mu mayumba gaabwe bakozese ebyuma ebisengejja empewo, amasomero bagawadde ennaku mbale gaggalewo abaana badde  eka n’emmotoka enkadde ezifuuwa erikka baziweze mu kibuga.
 
Emmotoka ezinakkirizibwa okuyingira ekibuga bagenda kuzibala bakkirizeeko ntono eziteewalika. Abo abalina okutambula nga tekyewalika, gavumenti ebagabidde obukampa bwe babikka ku nnyindo omukka guleme kubayingiramu nga bassa.
 
Abatasobodde kubufuna bakozese obutambaala bwe basiba ku mimwa n’ennyindo kyokka ekyeraliikiriza nti obumu bucaafu nga nabwo buyinza okuvaako endwadde. Ebirala mu Bukedde w'enkya ku muko gwa 'Ensi mawuuno'.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.