TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Bannalotale boolesezza emisono ne bacamula abalabi

Bannalotale boolesezza emisono ne bacamula abalabi

By Lilian Nalubega

Added 5th November 2019

Bannalotale ba Nateete Kampala, boolesezza emisono ssonsomola ne baleka abalabi nga babanyenyeza mutwe olw'obuyiiya bwe baataddemu

Lot26webuseone 703x422

Bano baayambadde mawulire ne banyuma

Bya Lilian Nalubega

Bannalotale ab’ettabi ly'e Nateete mu Kampala boolesezza emisono egirese abantu nga bafa enseko bwe babadde basonda ensimbi ez'okuzimbira abayizi ba Busiiro C/U Primary School mu disitulikiti y'e Luuka ebizimbe ate n'okuddaabiriza ebikadde ebiriwo bye bagamba nti biri mu mbeera mbi.

 bamu ku beetabye mu kwolesa nga balindiridde okusalawo asinze Abamu ku beetabye mu kwolesa nga balindiridde okusalawo asinze

 

Ssaalongo Baligaya Mufumbiro eyaliko Pulezidenti w'ekibiina kino yagambye nti, abaana mu ssomero lino bawandiika ku ttaka era nga n'abasomesa kwe babagololera ebikolebwa olw’obutaba na bikozesebwa ng'embaawo okuwandiikibwa wadde ebitabo n’ekkalaamu.

 sebunnya izza ku kkono ne saalongo aligeya ku mukolo Ssebunnya Kizza (ku kkono) ne Ssaalongo Baligeya ku mukolo.

 

 Ssebunnya Kizza naye eyaliko Pulezidenti w'ettabi lino yagambye nti, okunoonyereza kwe baakola baakizuula ng’essomero lino mu myaka gya 1980 lyafulumyanga abaana abasomye obulungi era nga lyali ku mutindo gwa waggulu kyokka kati lye lisinga okuba obubi mu disitulikiti y'e Luuka n'ebitundu ebiriraanyeewo.
amascus sali yayambadde yunifoomu ngalya ebikajjo mu kkubo nanyumisaDamascus Ssali yayambadde yunifoomu ng'alya ebikajjo mu kkubo n'anyumisa

 

Mike Ssebalu, eyakulembeddemu okusonda ssente zino yawaddeyo 1,000,000/- ng’ayita mu kibiina kye ekya Grand Micro Insurance n'ategeeza nti abantu abatalina busobozi bagwana kudduukirirwa.

 muwala eyamyuka ngettungulu yayolesezza kwambala bikoola nacamula abalabi Omuwala eyamyuka ng'ettungulu yayolesezza kwambala bikoola n'acamula abalabi

 

Yategeezezza nti, essomero lino lyetaaga obukadde obusoba mu 150 okusobola okulizza ku mulembe.

Johns Kyazze, omukungu mu lotale yawaddeyo 500,000/- ate n'endala ddoola 50 ezaaweereddwayo mukwano gwabwe okuva ebweru w’eggwanga.

bamu ku baabadde ku mukolo okusonda ssenteAbamu ku baabadde ku mukolo okusonda ssente

 

Pulezidenti w'ettabi lino, Florence Kibirango yakubirizza bannalotale okujjumbira omulanga guno era ne yeebaza abaawaddeyo ensimbi.

Emisono egyayoleseddwa mwabaddemu ennyambala ya ofiisi, ey'ebyemizannyo, ebyambalo ebiyiiye, yunifoomu z'amasomero n'ennyambala ey'ekinnansi.

 no yayambadde yunifoomu ngempale ya luwuzi nensawo eyoluwuluttuluzo nenagtto encaafu nasesa bangi Ono yayambadde yunifoomu ng'empale ya luwuzi n'ensawo ey'oluwuluttuluzo n'engatto encaafu n'acamula abalabi era ye yawangudde empaka 

 

Abamu ku baasinze okucamula abantu ye, musomesa wa Lubiri Nnaabagereka eyayambadde empale ng’engatto ncaafu ate ng’ensawo ya luwuzi, ne Damascus Ssali eyabadde n'ensawo ey'oluwuzi ng’ajambadde ku mutwe ate ng’atambula awenyera nga bw'alya n'ekikajjo mu kkubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...