TOP

Abafere bazze n'obukodyo obupya

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2019

ABAFERE bazze nobukodyo obupya mwe babbira abantu nga babakubira amasimu ne babasuubizza okubafunira emirimu. E Kawempe abantu abasoba 10 baddukidde ku poliisi oluvannyuma lw'okubuzaabuzibwa.

Swabrakintugwebaabbyeessimunessente 703x422

Swabra Kintu

BYA MOSES LEMISA

ABAFERE bazze n'obukodyo obupya mwe babbira abantu nga babakubira amasimu ne babasuubizza okubafunira emirimu. E Kawempe abantu abasoba 10 baddukidde ku poliisi oluvannyuma lw'okubuzaabuzibwa.

Abafere bakukubira essimu nga bakuyita erinnya lyo  ekyongera okukukakasa nti  bakumaanyi. Bakutegeeza nti eyamala  S.4 oba S.6  ng’ayala omulimu abatuukirire. Bagamba nti balina faamu nga basasula emitwalo 90  nga ebyensula n’okulya tebiri ku musaala.

 ashidah alubwama Rashidah Nalubwama

Bw'obafunira omuntu n’abasisinkana. Bamulambuzza omulimu ne bamukakasa  nti omulimu weguli. Bakulaga ne nnannyini  bizinensi  okitegera luvannyuma nti  naye mufere munnaabwe.

Batandika okukusaba ebyetaagibwa okuli okubawereeze ssente  batera kutandikira ku mitwalo 30 okudda waggulu, obufaananyi busatu, ne bakusaba oyokese mu ndaba muntu yo obaweeko kopi.

Bw'obasindikira ssente ogenda okuddamu okubakubira nga bakugamba ennamba gyokubyeko nkyamu.

Abamu ku be bakubidde ku ssimu ku nsonga eno kuliko Nalongo Mariam Ndibalekera mu katale k'e Nakawa, Rashida Nalubwama 29 ow’omu Dobi zooni ku Kaleerwe, Shabra Nabulya Kintu 22 ow'e Busega. 

Luke Owoyesigyire omwogezi wa poliisi mu kampala yategeezezza nti gye buvuddeko baakwata abantu e Makindye ne layini z’amasimu ze bakozesa okubba abantu. Yasabye abantu okukomya okwogera ebibakwatako mu bifo eby’olukale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...