TOP

Ab’omu Ghetto bawanda muliro ku Butchaman

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2019

ABARASITA b’omu Ghetto batabuse, beetemyemu ku bukulembeze bwa Butcherman.

Bucha1 703x422

ABARASITA b’omu Ghetto batabuse. Beetemyemu ku bukulembeze bwa Butcherman, Pulezidenti Museveni gwe yalangiridde gye buvuddeko nga ye Pulezidenti w’omu Ghetto n’amuwa n’omulimu.
 
Abarasita baagambye nti bo bamanyi Kabaya nga pulezidenti w’omu Ghetto kyokka ne bawa Butcherman amagezi okulya omusimbi gwe baba bamuwadde.
 
Bino baabyogeredde mu lukuηηaana lwe baakubye mu Ghetto y’omu Kisenyi ku Ssande.
 utcherman Butcherman

 

Baabadde bakulembeddwaamu omuyimbi Nick Rasta eyeeyita Ghetto King. Ono abadde yaakadda okuva e South Africa gye yawangulidde engule y’okukuba omuziki era bwe baamutegeezezza ku mawulire g’okuwamba mukama we Kabaya n’atabuka.
 
‘Pulezidenti wa Ghetto amanyiddwa ye Kabaya kale kibeera kikyamu abantu nga Kusasira
ne Full Figure abatamanyi bya Ghetto okuwabya omukulembeze w’eggwanga ne bamulaga Butcherman atali mutuufu.
 
Kikyamu nnyo okweyita kyotali. Kabaya yagambye nti Butcherman abeere eyo
mu ofiisi ze naye tageza n’alinnya mu Ghetto kubanga bajja kumuliirayo.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...