TOP

Aba KACITA batabukidde URA

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2019

Aba KACITA batabukidde URA

Kip2 703x422

Akulira abasuubuzi b’omu Kikuubo Mohamed Katimbo ng’atabukidde mu lukiiko. Issa Ssekitto (mu kkooti) n’abalala.

ABASUUBUZI ba KACITA basisinkanye aba URA ne balya matereke ku kiragiro ky’okusasulira omusolo ku mwalo e Mombasa ne Dar Salam abasuubuzi kye bawakanya nti, kigenderera kubafiiriza butitimbe bwa ssente.

Wakati mu kutabuka baababalangidde okubatulugunya era aba URA ne basaba olukiiko lwongezebweyo okutuusa nga November 15 nga bazzeemu okutunula mu kwemulugunya kwabwe.

Omukungu wa URA Stephen Magera yasoose kuyitira mu basuubuzi ku nkola empya n’abannyonnyola emisolo gyonna gikyasasulirwa mu Uganda wabula bayimirizza ku ky’okusasulira mu sitoowa ennenne (Ware Houses) mwe babadde basooka okubiwummuliza.

Yabagambye nti ebyamaguzi eby’enjawulo babadde babikkiriza okusooka okukuumibwako mu ‘Ware House’ kyokka bakizudde nti, bannannyini byo balina enkola embi gye babikwatamu ne bitagerekebwa bulungi ku musolo.

Magera yanokoddeyo nti sukaali asinga okukozesebwa mu ggwanga akolerwa wano nti oyo asinga okusuubulibwa ebweru aba agenda kutwalibwa bweru wa ggwanga era abamusuubula baddamu ne bamukwatamu ne bamusiba mu bipimo ebirala ekitawaanya URA okumugerekera omusolo.

Ensonga za Magera zaatabudde abasuubuzi ne baziwakanya ne bamulangira nti abamu ku bakungu mu URA balina kkampuni zaabwe ze baagala zibakolemu Jjajja w’omulangira Ssemakookiro azikiddwa Bukedde 5 AMAWULIRE Lwakusatu November 6, 2019 Aba KACITA batabukidde URAssente naye babaguddemu ekiragiro tebagenda kukikkiriza. Omu ku basuubuzi Godfrey Mukasa yatabuse n’agamba nti lwaki aba URA tebalumirirwa basuubuzi ate nga be babawa ssente.

Yalaze nti bangi ku basuubuzi bagudde lwa musolo era abaali bayingiza mu ggwanga konteyina ezisoba mu ttaano kati baleeta emu oba beegatta n’abalala. Hasan Kalule yagambye nti wadde omusuubuzi asasulira omusolo e Mombasa kyokka bamuwa empapula nga tezeetongodde era baba bakyamulinako obuyinza kubanga baba baagala abantu baabwe abalala baddemu bamukeberere mu kkubo n’ebigendererwa eby’enjawulo.

Ssentebe wa KACITA Everest Kayondo yabanjulidde ensonga musanvu eziruma abasuubuzi ze basaba Gavumenti ekoleko mu bwangu.

ABASUUBUZI BYE BAAGALA 1 URA eyimirize ekiragiro ky’okusasulira omusolo e Mombasa ne Dar Salam.

2 Ebabuulire ababadde beewola ssente ne basasula omusolo nga ebyamaguzi biri mu sitoowa bagenda kuyambibwa batya ate nga bigaaniddwa okuyingira mu ggwanga nga tebisasudde.

3 Singa basasulira omusolo e Kenya ne Tanzania ani agenda okulondoola ebyamanguzi byabwe nga URA tekyabirinako kakwate.

4 E Kenya ne Tanzania ani agenda okubeerawo ng’aba URA babalirira ebyamaguzi byabwe okukakasa nti bikwatiddwa bulungi.

5 Singa basasulira e Kenya, bwe banaaba babireeta mu ggwanga ate ne babayimiriza okuddamu okubakebera ani agenda okuvunaanyizibwa ku nsonga eyo.

6 Singa tukeerewa okusasula, ebintu byaffe bagenda kubitundirawa ku nnyondo. Ebipakirwa ennyo n’okusibibwa ani agenda okubeerayo e Mombasa nga babitikkula okubibala bisobole okutaasibwa okwonooneka era ani agenda okusasulira okufiirizibwa okwo.

7 URA etunuulidde abakozi abagenda okufiirwa emirimu nga byonna bikoleddwa Kenya ne Tanz

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...