TOP

Bayingiridde paasita ne bamutemaatema

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2019

Bayingiridde paasita ne bamutemaatema

Kip2 703x422

Paasita Muwanguzi

ABAZIGU abeebijambiya bayingiridde paasita e Kiteezi ne bamutemaatema kati apooceza mu ddwaaliro e Mulago.

Paasita Buluhan Emmaneul Muwanguzi ow’ekkanisa ya Power of God Ministries International esangibwa e Kanyanya, abazigu abatannamanyika nga baabadde babagalidde ebijambiya baamuyingiridde mu kiro kya Mmande ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro ne bamutemaatema ne bamuleka ng'ataawa ne badduka.

Ekigendererwa ky’abazigu bano kyatabudde ab’omu maka oluvannyuma lw’okutegeeza nti, tewali kintu n’ekimu mu nnyumba kye baatutte okuggyako ‘waleti’ gye baggye mu mpale ya paasita.

Sarah Babirye mwannyina wa paasita bwe baabadde mu nnyumba yategeezeza nti, abazigu bano okubalumba buli omu yabadde agenze mu buliri bwe era nga baggaddewo ebisenge byonna.

Muwanguzi embeera abazigu gye baamuyisizzamu yabadde mbi nga mu kiseera kino ali ku kitanda nga tavaamu kigambo kyonna era abasawo bagezaako okumujjanjaba okulaba ng’embeera ye etereera.

Oluvannyuma lw’okumwekebejja mu ‘scan’ abasawo baategeezezza ng’ebijambiya ebyamutemeddwa bwe byamutuuse ku kawanga ng’akasaayi kamutuuse ku bwongo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Apass1 220x290

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...