TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muwonge akulaga Bukedde bwe yafuuka ekitundu ku bulamu bwe

Muwonge akulaga Bukedde bwe yafuuka ekitundu ku bulamu bwe

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2019

Muwonge akulaga Bukedde bwe yafuuka ekitundu ku bulamu bwe

Kit2 703x422

Muwonge ng’alaga agamu ku mawulire agaamukwata omubabiro.

EBISANYUSA n’ebiyigiriza ebiri mu lupapula lwa Bukedde bireetedde Alfred Muwonge okumufuula ekitundu ku bulamu nga tayinza kumala lunaku nga tamusomye.

Muwonge omutuuze ku kyalo Musajjaalumbwa e Mengo mu Kampala agamba nti naye yajaguzza emyaka 25 ng’agula, asoma n’okunyumirwa olupapula lwa Bukedde kuba talusubwa. Natandika okugula n’okusoma amawulire mu myaka gya 1990 nga gitandika.

Mu kiseera ekyo Bukedde yali tannaba kutandika. Wabula Bukedde bwe yatandika mu 1994, yansikiriza nnyo olw’ebifaananyi ebirungi n’ensengeka y’ebigambo ennungi eyakuwalirizanga okusoma emboozi okuva ku ntandikwa okutuuka lw’eggwaayo nga tokooye wakati mu kunyumirwa.

Omusajja eyasooka okundeeteranga amawulire baamuyitanga Bazibumbira. Ono yali akiyize nti buli lunaku alina okundeetera amawulirega Bukedde. Ensonga ezasinga okunsiba ku Bukedde nnyingi naye ng’annyambye okukyusa obulamu bwange n’ab’omu maka gange.

Muwonge eyasangiddwa n’entuumu z’amawulire yagambye nti buli akwata ku mawulire agakuuma nga kalira kuba akimanyi nti galina okuterekebwa. Yalaze ebimukuumidde ku mawulire okuli;

 uwonge ngalaga agamu ku mawulire agakuumirwa mu bukutiya mabega atudde ye mukyala we nezimu ku ssoole zengatto zakola Muwonge ng’alaga agamu ku mawulire agakuumirwa mu bukutiya. Emabega atudde ye mukyala we n’ezimu ku ssoole z’engatto z’akola.

Ebyemizannyo: Ndi musajja anyumirwa ennyo ebyemizannyo ebya wano n’ebweru, era Bukedde yannyamba okumanya 18 Bukedde

SADAT JJUNJU EMBOOZI

Lwakusatu November 6, 2019 Bukedde 17 Awezezza emyaka 25 nga tasubwa kkopi Muwonge akulaga Bukedde bwe yafuuka ekitundu ku bulamu bwe ebigenda mu maaso mu nsiike y’ebyemizannyo.

Waliwo lwe bakulambululira Ssita wa wiiki n’abazannyi gye baliira obulamu n’omulirira ddala ng’onyumiddwa.

Oluusi omupiira bw’oba wagulabye ku ttivvi enkeera ne baguwandiikako, tekikugaana kuddamu kugusoma naddala ku ttiimu gy’owagira ate n’ozuulayo k’otaalabye.

Bukedde era annyambye nnyo ku nkuza y’abaana.

Etuleetera bannaddiini buli lwa Ssande abatuwabula ku bintu bingi naddala enneeyisa, emboozi ezikubiriza abazadde okwagazisa abaana okukola, baleme kubeera ngajaba nga bakuze.

Emboozi za yiiya ssente buli Lwakusatu nazo zinnyambye okubeera omukakaalukanyi kubanga zikulaga engeri abantu gye batawaanamu n’emirimu nayene balemerako okutuusa nga bawangudde.

Ebyobulamu. Bukedde w’oku Lwokuna simusubwa olw’emboozi ezibeeramu, ng’abakugu mu by’obulamu batuwabula ku bintu bye tulina okulya n’enneeyisa, okusobola okwewala endwadde.

Kinyambye okumanya emmere gye ndya n’abomu maka gange era tetwejjusa kubanga tuligita buligisi nga nnyana era ku myaka egyo gyonna gye nsomedde amawulire ntambula neesimbye bwa ntoogo nga n’amaaso tegaliimu nkenyera.

Emboozi Bukedde z’ewandiise ku nkaayana eziri ku ttaka zinnyambye okubeera omulabufu ku mugaso gw’okukuuma ebiwandiiko ku ttaka, ate n’okumanya obukulu bwalyo, ne gy’oddukira ssinga wabeerawo abakufutyanka.Yalekawo ekisenge mw’agakuumira Mu nnyumba yange nalekamu ekisenge ekyetongodde nga muno mwe nkuumira empapula zange eza Bukedde.

Zonna nzirina mu bungi era tewali wadde ezaalibwa ennyenje. Omulenzi agandeetera buli lunaku agateeka ku ofi isi yange nga ne bwemba siriiwo agayisa mu ddirisa ne ngasanga.

Bwe gabeera gawedde okusoma ne gatwalibwa mu kisenge mwe gakuumirwa era agamu gaateekebwa mu bukutiya. Wabula nsaba abaddukanya olupapula luno okwongeza ku bunene bw’enyukuta kubanga waliwo ezirabika ng’entono.

Muwonge alina ekyuma ekikola engatto mu Kisenyi nga muno mw’aggya ssente ezimuyimirizaawo n’amaka ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu