TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde bavudde mu mbeera lwa baana baabwe obutatuula bigezo

Abazadde bavudde mu mbeera lwa baana baabwe obutatuula bigezo

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2019

Abayizi ba P7 ku ssomero lya Pride Nursary and Primary School Nsambya tebaatudde bigezo.

Abazaddemulukiiko 703x422

Abazadde mu lukiiko

Bya Vivian Namagembe

Abayizi ba P7 ku ssomero lya Pride Nursary and Primary School Nsambya tebaatudde bigezo.

Ku lunaku lw’ebigezo bya PLE abayizi baasangibwa nga bakonkomalidde wabweru w’ebibiina olw’okusanga essomero nga liggale kyokka nga n’abasomesa tekuli wadde n’omu.

 

 geeti eyasangiddwa nga nzigale geeti eyasangiddwa nga nzigale

 

Embeera eno yavuddeko abazadde okuva mu mbeera ekyawalirizza ssentebe w’omu kitundu Sam Matovu  atwala Gogonya Zooni I okuyita olukiiko okukkakkanya embeera.

Mu lukiiko luno abazadde baalumirizza okusasula z’abayizi okwewandiisa okukola ebigezo wabula kyababuuseeko obutakola. Balumiriza omukulu w’essomero Hassadu Mubiru okudduka oluvannyuma lwabayizi okutandika ebigezo.

Mu lukiiko lwe lumu mwabaddemu bamane lenda abaakulembeddwaamu Kigongo Kawagga nga bagamba nti babanja Mubiru 2,450,000/- bwe baamuwola

Abamu ku bazadde baalaajanidde ssentebe ne bekikwatako okubayamba okunoonya omukulu w’essomero ne dayirekita abaalya ssente z’abaana baabwe ne balemwa okutuula ebibuuzo ekintu ekigootaanyizza eby’ensoma by’abaana.

Ssentebe yawadde abazadde amagezi batwale abaana baabwe mu masomero amalala nga bwe banoonyereza ku bakulembeze b’essomero abadduka. 

 ssentebe am atovu wakati ngayogera eri abazadde ssentebe Sam Matovu wakati ng'ayogera eri abazadde

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde

Tr1 220x290

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki...

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki

Lip1 220x290

Beekalakaasizza ku bya poliisi...

Beekalakaasizza ku bya poliisi okutta Omuddugavu