TOP

'Nakutukako omukono nga ndi ku kyeyo'

By Musasi wa Bukedde

Added 7th November 2019

Pascio Mutuba 50; Nnali ku kyeyo mu Iraq gye yali ng’egenze okukola ogw’obukuumi ekimotoka ne kintomera ne mmenyeka omukono n’embiriizi ne mmala mu kkoma wiiki ssatu.

Unit1 703x422

Pascio Mutuba

Bwe nafunamu olungubanguba natikkibwa ku nnyonyi ne nkomezebwawo mu Uganda era natuukira Mulago olw’embeera embi gye yalimu.

Mutuba anyonyola nti okusinziira ku ndagaano gye yakola ne Kkampuni ya Triple Canopy mu kiseera kino nga yakyusa erinnya n’etuumibwa Gideon’s Men yali eraga nti singa afunirayo obuzibu yalina okufuna obujjanjabi nga busasulibwa kkampuni ya Yinsuwa eyitibwa Chartis Insurance mu Amerika.

Eky'ennaku emyaka 10 egiyiseewo bukyanga afuna akabenje akaamulemaza.

Yinsuwa yalina okunsasula obukadde bwa ddoola 25, naye bampaayo emitwalo gya ddoola 10 gyokka.

Yawalirizibwa n’okutunda poloti ze bbiri okwali n’ennyumba asobole okufuna ssente ze yateeka akawunti ye ekitebe kya Amerika kisobole okumuwa viza.

Ekyali kimutwala mu Amerika yayagala kuggulawo omusango ku kampuni ya Chartis Insurance eyalina okumuliyiririra.

Kyokka bwe yatuukayo ne bamuwa amagezi okukomawo aguwaabe mu Uganda kuba gwali guyiseeko ekiseera.

Mu kiseera kino sirina kye nnina kubanga natunda poloti zange bbiri omwali n’amayumba nga noonya obwenkanya naye nakolera busa sirina kye nafunayo.

Kati abaana tebasoma, ate nange nneetaaga ssente z’obujjanjabi buli mwezi 130,000/-. Mpulira nga binyiinze kubanga sirina mulimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...