TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obukodyo obukozesebwa amakampuni okuggya ssente ku bantu abagenda ku kyeyo

Obukodyo obukozesebwa amakampuni okuggya ssente ku bantu abagenda ku kyeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 7th November 2019

Amakampuni gano gakozesa obukodyo bungi okufera ssente ku bantu naye ng’emirimu gye babasuubiza tegiriiyo. Okusinziira ku bukodyo buno kizibu nnyo okubatebuka.

Funa 703x422

Abalala abavunaana Nankunda.

 
  • Okukozesa amannya g’abanene. Amakampuni gano geerimbika mu mannya g’abanene mu ggwanga n’addala ab’amagye, ababaka ba palamenti ne baminisita nga ne bwe bakunyaga okizuula nga tewali ky'oyinza kubakola.
  • Bakulimba omulimu ogw’amaanyi naye nga tebagulina. Bw'ojja okwewandiisa mu makampuni gano bakubuuza omulimu gw'oyagala okukola era buli gw’obagamba bakkiriza nti bagulina ne bakuteeka ku bunkenke osasule ssente bakutwale okole. Bw’omala okusasula ne zigwayo nga bakakutema nti balina mirimu mirala gya bwa yaaya.
  • Okuleeta Abawarabu mu kukola Yintaviyu. Amakampuni gano gakozesa abantu yintaviyu ez’enjawulo nga bakyababuzaabuza. Mu yintaviyu zino basooka kuleeta abasajja Abawarabu okukozesa yintaviyu ne muyitika.
  • Okubaawulamu ebibinja. Abavubuka be twayogeddeko nabo baategeezezza nti mu kugezesebwa okusooka bakung'aanya abantu bangi abali wakati we 300 – 400. Wabula bwe wayita ekiseera bagenda bakubirako batono essimu mu bibinja by'abantu nga 30. Bano babakakasa nti bannaabwe baagenda dda, era bbo be baddako ekyongera okubagumya nga balowooza nti bbo be batannaba kufuna mukisa. Era kino kibayamba n’okubakuuma nga tebali bumu ekikaluubiriza olutalo lw’okubanja ssente zaabwe.
  • Amakampuni gano gakwatagana okusobola okukola obulungi akazannyo k’okubuzaabuza. Amakampuni galina enkolagana ey’enjawulo, egayamba naddala nga balaba omuwendo gw’abantu ababanja ssente zaabwe gweyongedde. Kkampuni emu esobola okutikka abantu baayo n’ebatwalira kkampuni endala ng’ebagambye nti waliyo emirimu naye yo terina bantu baakutwala.
  • Amakampuni agamu gatandika okukola nga tegalina layisinsi era nga ssi mawandiise. Abantu be gatutte bwe bafunira obuzibu ebweru okugeza ng’obubenje ku mirimu nga beetaaga okuliyirirwa, kkampuni eyamutwala ng’ekyusa amannya. Gwe bwogezaako okugoba ku nsonga z’okubawawaabira okaluubirizibwa era abasinga babivaako ne bakakkana ne basigaza kukolima, ng’eno kkampuni eyongera kukola mirimu gyayo.
 
POLIISI KY'EGAMBA
 
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyago yategeezezza Bukedde nti yabadde tamanyi nti amakampuni gano gakyakola era n'ategeeza nti ensonga eno agenda kugyetegereza.
 
Bwe twatuuseeko ku minisitule evunaanyizibwa ku bakozi twasisinkanye kaminsona avunaanyizibwa ku bakozi Lawrence Egulu ne tumutegeeza ebintu bye twabadde twagala ayogereko ku makampuni gano, yatusuubiza okubaako kyatutegeeza oluvannyuma lw'essaawa emu naye ate bwe twazzeemu oluvannyuma lw'essaawa gye yatugambye, yatutegeezezza nti ensonga ssi mwetefuteefu kuzoogerako newankubadde nga yabadde atusuubizza okutufunira ebyabadde bimusabiddwa.
 
BY'OLINA OKUMANYA NG’OYAGALA OKUKOLERA EBWERU
  • Sooka onoonyereze nga ddala omulimu gwogenda okukola gyeguli nga tonnaba kusimbula kugenda.
  • Weewale okutwalibwa omuntu ssekinoomu ng’ogenda okukola.
  • Olina okukakasa nti olina kontulakiti y’omulimu gw'ogenda okukola nga tonnaba kugenda.
  • Kkampuni ekutwala erina okuba nga yawandiisibwa minisitule y’ekikula ky’abantu.
  • Noonyereza erinnya lyayo era olabe ne layisinsi nnamba yaayo ng’ogoberera website ya minisitule.
  • Kakas anti olina viza y’omulimu nga si viza ya kukyala oba okulambula.
  • Tokkiriza kutwalibwa bitongole birambuza bantu oba be bakolagana nabo.
  • Sooka okakase nga ddala omulimu gw'oyagala okugenda okukola nga gye guli nga weebuuza ku kitebe ky’eggwanga gy'oyagala okukolera. Wamimba Abalala abavunaana Nankunda. 

Emboozi zino ziri wansi w’enkwatagana wakati wa Vision Group ne DGF okutumbula eddembe ly’obuntu n’okufuna obwenkanya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...