TOP

Rema ne ssenga batandise okubakolako

By Musasi wa Bukedde

Added 7th November 2019

Nabatanzi yagambye: omukolo gw’okukyala mwagulaba! Mulowooza okwanjula kunaaba kutya? Buli kintu kiwedde. Tutegese omukolo gwa bbeeyi ate gwa kitiibwa.

Remassenga1 703x422

Rema (ku ddyo) ne ssenga we Nabatanzi.

Bya MARTIN NDIJJO NE HAFUSWA NANKANJA

SSENGA wa Rema ow’ensonga agambye nti omugole abakugu baatandise dda okumukolako.

Era ne ssenga yamwegasseeko dda okubalongoosa bombi naddala omubiri batuuke ku mukolo gw’okwanjula nga basaanidde.

Sarah Nabatanzi eyasangiddwa e Kyengera mu Nkonkojeru Zooni A, yagambye nti we bagendedde okubakolako ebisembayo ng’ebintu ebirala byonna biwedde.

Rema ajja kwanjula Dr. Hamza Sebunya ku Lwokuna nga November 14 e Nabbingo mu zooni ya Bataka.

 waka awagenda okuba omukolo wayooyooteddwa Awaka awagenda okuba omukolo wayooyooteddwa.

 

Ensonda zaategeezezza nti wiikendi eno Rema ajja kuyimba ku mikolo ebiri kubanga yasasulwa dda tasobola kuyiwa bakasitoma. Okuva wano tajja kukola mukolo mulala okutuuka ku gugwe ne Sebunya.

Nabatanzi yagambye: omukolo gw’okukyala mwagulaba!

Mulowooza okwanjula kunaaba kutya? Buli kintu kiwedde.

 ema ne amza ku mukolo gwokukyala kwabwe omwezi oguwedde Rema ne Hamza ku mukolo gw'okukyala kwabwe omwezi oguwedde.

 

Tutegese omukolo gwa bbeeyi ate gwa kitiibwa.

Yagambye nti Rema yamusasulidde mu kifo we yatandise okugenda buli lunaku bamukoleko naddala ku lususu.

Rema naye aliko abakugu abamukolako awaka ne mu saluuni gattako abakola ku by’okulya n’okumuteekateeka.

 enzo Kenzo

 

Waliwo n’abamubudaabuda aleme kuwugulwa byogerwa n’ebisaasaanyizibwa ku mikutu gya yintaneti naddala ebyogerwa Eddy Kenzo.

Nabatanzi yagambye nti ne Bassenga ba Rema abalala nabo beekolako okulaba nga tewali ajja ku mukolo nga musiiwuufu.

“Baganda bange (bassenga) baakola dda ssente zaabwe era bajja kuziragira mu kuweesa mukolo kitiibwa. Rema tayagala bimuswaza kubanga serrebu ali mu kiti ekikye yekka”, bwe yagambye.

Ku ky’okutegekera omukolo mu maka ga Francisco Semwanga e Nabbingo, Ssenga Nabatanzi yagambye nti Semwanga awagenda okubeera omukolo naye wa mu nju.

“Rema twamumanya bukulu kati tetusobola kumukaka oba kumusalirawo ku buli kimu. Bw’aba alina waasiimye okuteeka omukolo gwe tetusobola kumugaana kubanga ne we gugenda okubeera wa mu nju”, bwe yagambye.

N’agattako: twandiyagadde gubeere mu kyalo e Masaka naye ate Rema abantu b’akuliddemu ne mikwano gye abasinga bali mu Kampala. Tetulaba nsonga lwaki batindigga olugendo lw’e Masaka oba e Ssese.  

 

 

SSENGA era asabye Kenzo yeesonyiwe muwala we nti kubanga by’amwogerako bimukosa n’okuleetera Rema situleesi.

“Mpulira bingi Kenzo by’ayogera ku Rema era nnawulidde agamba nti Rema ajja kumuddira naye njagala okumukakasa nti ebyo by’aliko aloota era yeebeereremu.

Kenzo akyetaaga ki okumanya nti Rema yamukyawa? Lwaki teweesonyiwa muwala wange?” bwe yeebuuzizza.

 ema Rema mu kiteeteeyi kye yakyusizaamu ku kukyala kwe.
 
 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam