TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa NRM gwe baakuba emisumaali ayagala poliisi enoonyereze ku baamukolako effujjo

Owa NRM gwe baakuba emisumaali ayagala poliisi enoonyereze ku baamukolako effujjo

By Joseph Mutebi

Added 7th November 2019

Kasumba yagambye nti, abaamukuba emisumaali tabamanyi kyokka bwe baali tebannamukuba misumaali, yasooka kufuna kutiisibwatiisibwa nga bamulabula okukomya okwambala enkoofiira ya NRM.

Misumaali 703x422

Kasumba ng'alaga dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda ebibatu mwe baayisa emisumaali. Mu katono bw'afaanana.

Bya JOSEPH MAKUMBI

OMUVUBUKA Baker Kasumba omusuubuzi w’omu Kampala ku kizimbe kya Jesco ku luguudo lwa Namirembe gwe baakuba emisumaali mu kibatu yategeezezza nti ayagala ebitongole by’ebyokwerinda binoonyereze ku bantu abaamukolako effujjo lino kubanga obulamu bwe buli mu matigga.

Kasumba okwogera bino, yasoose kusisinkana dayirekita w’ekitongole ekikettera mu ggwanga ekya ‘Internal Security Organization (ISO)’ Col. Frank Kaka Bagyenda wiiki ewedde n’amubuulira embeera gyalimu okuva lwe baamukuba emisumaali mu bibatu nga August 28, 2019.

Kasumba yagambye nti, abaamukuba emisumaali tabamanyi kyokka bwe baali tebannamukuba misumaali, yasooka kufuna kutiisibwatiisibwa nga bamulabula okukomya okwambala enkoofiira ya NRM.

Ono agamba nti okuva ku kyalo ewabwe, famire yaabwe yonna bawagizi ba NRM naye bwe yajja mu kibuga, yasanga omulembe gw’enkoofiira z’ebibiina gwe guliko n’agulayo emu nti kyokka buli eyamuyitangako ng’amuvuma.

Agamba nti waliwo omusajja gw’asinga okujjukira eyamulumba n’amugamba nti, yamulabula dda okukomya okwambala enkoofiira ya NRM naye tawulira n’amugamba nti, tamunenya ku kinaddirira kubanga ne bw’anaaba addukidde mu kyalo gye bamuzaala ajja kumulumbayo.

Kasumba omutuuze w’e Kawempe yagambye nti, olunaku lwe baamukuba, yali annyuse ng’adda waka kyokka n’asalawo okuyitirako ewa nnyina ku Kaleerwe kyokka aba tannatuuka mu ttaawo, abantu ne bamukwata.

Yagambye nti, yalaba abasajja bana abaamuvumbagira ne bamuwalula ku ttaka ng’omu bw’amugamba nti, ‘twakulabula dda naye towulira’.

Yagambye nti, yali alowooza baagala ssente n’abagamba nti nnina ssente muzitwale mundeke ne bamutegeeza nti, ‘tetwagala ssente zo’.

Agamba baamugalamiza ebibatu ku ttaka ne batandika okukoona nti kyokka tajjukira ngeri gye baamukuba misumaali. Kasumba baamukuba emisumaali ena yinsi mukaaga mu bibatu ne bamuteerako enkoofiira ye eya NRM abakazi abaali banoonya omwana wabwe eyali abuze we baamusanga ne bayita poliisi.

Yagambye nti, abantu boogedde bingi ku kyamutuukako omuli n’okugamba nti ye yeepangira abantu ne bamukuba emisumaali ng’ayagala okufuna ssente za Museveni ekitali kituufu.

Kaka bwe yatuukiriddwa yagambye nti, kituufu Kasumba yabatuukiridde ng’akaaba obulumi mu mikono n’asaba banoonyereze kubanga ayagala afune obwenkanya ku kyamutuusibwako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza