TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekibuga Masaka kiteekeddwa ku lukalala  lw’ebigenda okusuumusibwa omwaka ogujja

Ekibuga Masaka kiteekeddwa ku lukalala  lw’ebigenda okusuumusibwa omwaka ogujja

By Muwanga Kakooza

Added 7th November 2019

Ebibuga omusanvu ebigenda okusookerwako okusuumuusibwa okufuuka ‘site’ kuliko; Masaka, Mbale, Arua, Mbarara, Gulu, Fort Portal ne Jinja.

GAVUMENTI epondoose n’ekkiriza okussa ku mwanjo eby’okusuumusa  ekibuga Masaka okuva ku munisipaali kifuuke ‘city’ (site) omwaka ogujja.

Ku lukalala lw’ebubiga gavumenti bye yasooka okufulumya nti bigenda kufuulibwa ‘site’ okutandika n’omwaka ogujja, Masaka teyaliimu.

Kino kyaleetawo okwemulugunya okuva mu bantu bangi omwali ne Kabaka Ronald Mutebi era olukiiko lwa baminisita lwatudde ku ntandikwa ya wiiki eno ne lukkiriza Masaka ne Mbale bibe ku mwanjo gw’ebibuga ebinaasooka okufuulibwa ‘site’ kuba bikulu nnyo.

Mu ngeri y’emu minisita w’eggwanga owa gavumenti z’ebitundu, Jenniffer Namuyangu yagambye nti gavumenti terina ntegeka za kuzimba kibuga ky’eggwanga kikulu kipya okuggyako Kampala.

Bino Namuyangu yabitegeezezza bannamawulire ku Uganda Media Centre mu Kampala. Ebibuga omusanvu ebigenda okusookerwako okusuumuusibwa okufuuka ‘site’ kuliko; Masaka, Mbale, Arua, Mbarara, Gulu, Fort Portal ne Jinja.

Hoima kijja kusuumusibwa mu 2021/22. Ate Lira ne Ntebe bisuumusibwe 2022/23. Nakasongora, Kabale, Soroti ne Wakiso byakufuulibwa ‘site’ mu  mwaka 2023/24. Okufuula Masaka ne Mbale ‘site’ kugenda kuwemmenta ensimbi ezisoba mu buwumbi 11.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza