TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basabye Pulezidenti awummuze aba LDU olw’okutirimbula abantu abatalina musango

Basabye Pulezidenti awummuze aba LDU olw’okutirimbula abantu abatalina musango

By Paddy Bukenya

Added 7th November 2019

Abenganda z’omusuubuzi wa mmotoka eyattiddwa owa LDU basabye Pulezidenti Museveni awummuze aba LDU olw’okutirimbula abantu abatalina musango.

Abakungubazingabasiibulassettuba 703x422

Abakungubazi nga basiibula Ssettuba

Abenganda z’omusuubuzi wa mmotoka eyattiddwa owa LDU basabye Pulezidenti Museveni awummuze aba LDU olw’okutirimbula abantu abatalina musango.

Basabye Pulezidenti Museveni awummuze aba LDU bonna, bafune okutendekebwa okumala n’abaakoze obutemu ku bantu abatalina musango bavunaanibwe.

Kino kiddiridde Jimmy Ssettuba 32, omusuubuzi wa mmotoka okukubwa essasi ku mutwe nga bamuteebereza okuba omubbi, ku loogi ya Mango Guest House E Kabuusu mu division y’e Lubaga .

 

 mugenzi settuba Omugenzi Ssettuba

 

Bino baabyogeredde mu kuziika Ssettuba e Ngomanene mu ggombolola y’e Mpenje e Gomba ne benyamira olw’okufiirwa omuntu waabwe atalina musango.

Rev. Nicholas Malembe eyakulembeddemu okusabira omugenzi yasabidde abazadde, Katonda abagumye.

Yasabye abakungubazi okuteeka eggwanga lya Uganda mu ssaala olw’ebikolobero ebisusse ng’ebimu bikolebwa abakuumaddembe ate abavunaanyizibwa okukuuma abantu n’ebyabwe naddala aba LDU ne poliisi.

 Yasabye abakungubazi beekwase Katonda mu buli kye bakola n’asaba

n’abakuumaddembe okukozesa obulungi emmundu nga zikuuma Bannayuganda so sikutirimbula bantu bannaabwe.

 Omusuubuzi eyabadde n’omugenzi nga bamutta, Ibra Kakooza yasambazze ebigambibwa nti Ssettuba yabadde agezaako kubba malaaya n’ategeeza nti malaaya ye yabadde agezaako okubba Ssetuba. Yasabye poliisi okunoonyereza ku mukazi eyavuddeko ettemu lino oba nga ddala yabadde n’ekkobaane n’abasirikale ba LDU.

 aama wa settuba ngayaziirana Maama wa Ssettuba ng'ayaziirana

 

Maama w’omugenzi, Kevin Nazziwa yanenyezza poliisi okuyita omwana we omubbi n’asaba Pulezidenti Museveni abataase ku ba LDU abatta abantu abatalina musango, bavunaanibwe wabeerewo obwenkanya.

 Omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ba mmotoka mu ggwanga Huudu Ssemuge yasabye gavumenti  n’ebitongole ebikuumaddembe bongere obukuumi ku basuubuzi ba mmotoka kuba balina okutya ku

bumenyi bw’amateeka n’obubbi obususse ng’ate bakola kya maanyi kubyenfuna by’eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza